Bya Ssemakula John
Kampala – Kyaddondo
Maama w’omubaka wa Kawempe North Muhammad Ssegiriinya, Justine Ssanyu Nakajumba asisinkanye Minisita w’ensonga z’amateeka n’ekitongole ekiramuzi, Nobert Mao namusaba atunule munsonga za mutabani we asobole okuweebwa eddembe lye.
Ensisinkano eno ebadde mu woofiisi ya Mao esangibwa ku Minsitule y’obwenkanya n’ekitongole ekiramuzi wano mu Kampala.
“ Nsisinkanye maama wa Ssegiriinya era twegattiddwako ssentebe w’akakiiko k’eddembe ly’obuntu, Mariam Wangadya abadde ankyalidde. Musuubizza ensonga ze okuwulirwa mu mazima n’obwenkanya,” Mao bw’ategeezezza nga ayogera ku nsisinkano eno.
Mao annyonnyodde nti ali mukusomoozebwa okubaako ensonga zagonjoola nga eza Ssegiriinya ne Ssewanyana kyokka bwezaali zitandika teyali mu kifo kino.
Okusinziira ku Mao kyasobola okukola kati kwekulaba nti emisango gy’ababaka bano giwulirwa mu bwangu era mu bwenkanya.
Eggulo, Nakajumba yagezezaako okuyingira mu woofiisi ya Mao wabula nalemesebwa ab’ebyokwerinda olw’okuba Mao yabadde mu lukiiko lwa Kabineeti e Ntebe nebamusaba akomewo leero.
Ababaka bano Ssegiriinya ne Ssewanyana bakwatibwa omwaka mulamba n’ekitundu emabega ku bigambibwa nti bamanyi ku ttemu ly’ebijambiya eryali mu kitundu ky’e Masaka omwaka oguwedde.