
Bya Ssemakula John
Kampala – Kyaddondo
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alonze Ssenkaggale wa Democratic Party (DP), Nobert Mao okubeera Minisita w’ensonga za Ssemateeka n’Obwenkanya nga wakayita olunaku lumu lwokka nga batadde emikono ku ndagaano okukolera awamu.
Okusinziira ku bbaluwa efulumiziddwa ku Lwokuna, ng’eriko omukono gwa Pulezidenti Museveni egamba nti, “Nga nkozesa obuyinza obumpebwa Ssemateeka mu nnyingo 113 (1) ne 114 (1) eya Ssemateeka wa 1995, nangirira Mao nga Minisita omuggya ow’obwenkanya.”
Kino era Pulezidenti Museveni akikakasizza nga ayita mu bubaka bw’atadde ku mutimbagano.
Bino webijjidde nga wakayita olunaku lumu lwokka nga Ssenkaggale wa DP Mao ne Ssaabawandiisi Gerald Siranda bakamala okusisinkana mu maka g’Obwapulezidenti Entebbe nebakkanya okukolera awamu.
Mu ngeri yeemu, Omubaka Hamson Obua alondeddwa okubeera Nampala wa gavumenti ng’ekifo kino kibadde kikalu oluvannyuma lw’eyakirimu Thomas Tayebwa okulondebwa nga Omumyuka wa Sipiika wa Palamenti.
Ye Peter Ogwang asikidde Obua nga minisita w’ebyemizannyo so nga Beatrice Okello, nga ye mubaka omukyala owa Agago, alondeddwa nga minisita alondoola emirimu gya gavumenti.









