Ssettendekero wa Makerere University akyusiza obukulembeze bwa Nkobazambogo era nga Katikkiro Charles Peter Mayiga yabadde omugenyi omukulu ku mukolo guno.

Namuddu Milly yeyalondeddwa nga Ssentebe omuggya nga ono yazze mu bigere bya Nkata Muhammad era yasubizza okukola ennyo okusobola okutuukiriza ebigendererwa ebya mulonzeza. Ye Ssentebe eyawaddeyo obukulembeze yakuutidde Ssentebe omugya okuba omuwulize ate ayagale nnyo Obwakabaka.
Katikkiro Charles Peter Mayiga yalabudde abavubuka obutenyigira mu mivuyo era n’abakubirirza okukola ennyo nga abavubuka ab’omulembe Omutebi n’okulowooza ku bulamu bwabwe obwo mumaaso. Katikkiro yalabudde abavubuka okulekera awo okulowoleza mu kuwebwa n’okujoogebwa nga babawa ensimbi. yayongedde yakubiriza abavubuka okwenyigira mu mirimu egivaamu ensimbi era n’abagamba okwebuzanga ku bakulembeze okubawa amagezi agabazimba okusobola okwewala okuwaba.
Katikkiro era alambudde ennyumba Ssekabaka Muteesa II mweyasula ng’asoma e Makerere naye nga kati yeetaga kuddabirizibwa. Era wano yebaziza nnyo Vice Chancellor olw’okufaayo okuddabiriza n’okukuuma enyumba eno.
