Maama Nnabagereka Sylivia Nagginda, asisinkanye Mukyala Sarai Bareman, akulira omupiira gw’abakyala mu nsi yonna ne munne atwala omupiira gw’abakyala mu Africa, Safia Abdeldayem ku Bulange.

Boogedde ku ngeri gyebayinza okutumbulamu ebitone by’abaana abawala nga tebamenye buwangwa na nnono.
Ku lw’obwakabaka, Minisita w’abavubuka, eby’emizannyo n’okwewummuza, Henry Sekabembe Kiberu, agambye nti nga onakyuusa obulamu bw’abavubuka mu nnono, obuwangwa, mu by’obulamu, empisa n’enneeyisa yabwe, olina kukulembeza bya mizannyo kubanga byebasinga okwagala mu kiseera kino.

Yeebazizza Jean Sseninde olw’okuggulira abaana abawala enzigi ne boolesa ebitone byabwe oluvannyuma nebitumbuka.
Mu nsisinkano eno, Maama Nnabagereka abadde wamu n’omumbejja Katrina Ssangalyambogo anyumirwa ennyo eby’emizannyo era munna byamizannyo.