
Bya Ssemakula John
Kampala – Kyaddondo
Ekibiina ki ‘East Africa Philanthropy Network’ kiwadde maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda engule okusiima emirimu gyakoze okuzza obuntubulamu n’empisa mu bantu mu ggwanga awatali kusosola.
Engule eno ekwasiddwa Minisita w’ebyamawulire mu Buganda Owek. Noah Kiyimba kulwa Nnaabagereka Nagginda era emukwasiddwa akulira ekitongole kino Evans Okiiri ku mukolo oguyindidde ku Sky View Hotel mu Kampala.
Ssenkulu w’ekitongole kino Okiiri ategeezezza nti okumusiima bamaze kukola kunoonyereza mu mawanga okuli; Uganda Kenya ne Tanzania nebakizuula nti yasinze mukugunjula abaana n’okuzza empisa mu bantu naddala nga ayita mu nteekateeka y’Ekisaakaate.
Ab’ekitongole kino bagamba nti enteekateeka za Nnaabagereka ez’enjawulo zikoze kinene okuzza obwasseruganda mu bantu era y’omu ku bakyala abatono abeebuuzibwako ku nsonga z’abakyala n’abaana mu kitundu kya East Africa.
Mu bubaka bwe bwatisse, Minisita Kiyimba Nnaabagereka yeebazizza olw’ekirabo kino era bwatyo engule nagiwaayo eri abantu abeewaddeyo okujjumbira enteekateeka ze ez’enjawulo okwongera okubasiima.
Nnaabagereka ategeezezza nti wakwongera okugaziya omwoyo gw’ obwasseruganda era n’okudduukirira abo abali mu bwetaavu. Asabye abantu okufaayo eri bannabwe kiyambe okulaakulanira awamu.
Ate Minisita Kiyimba annyonnyodde nti singa buli muntu afaayo ku mulala kisobokera ddala okumalawo ebikolwa omuli obuli bw’enguzi kuba buli omu abeera alumirira munne.
Abasabye okulabira ku Nnaabagereka era bateekese byabalagira mu nkola okusobola okubeera ab’omugaso mu nsi.









