Nnagagga Bill Gates ow’emyaka 65 ne mukyala we Melinda Gates ow’emyaka 56 balangiridde nti,”Tetukyasobola kukkiriza nti tukyasobola okugenda mu maaso ng’abafumbo.”
“Oluvannyuma lw’okwefumiitiriza ku mukwano gwaffe, tusazeewo okukomya obufumbo bwaffe,” Ababadde abafumbo bano bwe bategeezezza nga bayita ku mukutu gwa Twitter.
Bano babadde bamaze emyaka 27 mu bufumbo era nga basisinkana 1980 oluvannyuma lwa Merinda okwegatta ku kkampuni ya Microsoft eya Bill Gates.
Abafumbo bano balina abaana basatu era babadde baddukanyiza wamu ekitongole ky’obwannakyewa ekya Bill & Melinda Gates Foundation ekikoze ennyo okutumbula eby’obulamu mu nsi yonna nga kirwanyisa endwadde n’okugema abaana.
Bino webijjidde nga Bill Gates akwata nnamba 4 mu bantu abasinga obugagga mu nsi yonna era okusinziira ku Forbes emmaali ye ebalirirwamu obuwumbi bwa ddoola 124.
Ono ssente okusinga yazikola mu kkampuni ye eya Microsoft gyeyatandika mu 1970 nga eno ekola Kkompyuta awamu n’ebyezikozesa.
Ababiri bano okulaga ensi nti obufumbo bwabwe bukomye baliko ekiwandiiko kyebatadde ku mitimbagano gyabwe egya Twitter nga busoma bwebuti;
“Tumaze emyaka 27 era tukuzizza bulungi abaana baffe abasatu era netuzimba ekitongole ekitumbula eby’obulamu mu nsi yonna. Tukkiriza nti tujja kusigala nga tukolera wamu okukitwala mu maaso naye tetukyasobola kuwangaala babiri nga abafumbo. Tusaba famire zaffe musooke muzesonyiwe nga bwezizuula engeri y’okutambuzamu obulamu buno obupya.”
Basisinkana batya?
Melinda yeegatta ku kkampuni ya Microsoft mu 1987 era bano ku batuula wamu ku ky’eggulo ky’ebyobusuubuzi ekyali kitegekeddwa mu kibuga New York.
Batandika okulabagana era okusinziira ku Bill byeyagamba omukutu gwa Netflix, bayagalana nnyo era buli omu yali afaayo nnyo ku munne era olw’okuba balina omukwano mungi balina eby’okusalawo bibiri bawukane nga bukyali oba bafumbirigane.
Melinda agamba nti Bill tewali musajja mwangu mu nsonga z’omutima era yalina olukalala lwe yawandiika ku birina okukolebwa n’ebitalina kukolebwa singa bafumbirigana.
Oluvannyuma bano bafumbirigana mu 1994 ku kazinga Lanai akasangibwa mu Hawai era bapangisa ennyonyi zonna ezaali zitwala abantu ku kazinga kano nga tebaagala kutaataaganyizibwa.
Bill Gates yawummula emirimu gy’okutuula ku bboodi ya kkampuni ya Microsoft neyeemalira ku mirimu gye egy’obwannakyewa.
-BBC