
Bya Shafik Miiro
Bulange – Mmengo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga atabukidde abakulira ebitongole by’ ebyokwerinda ne basajja baabyo olw’okuba ku bantu nebabakuba ng’abakuba ente naabasaba okukomya ebikolwa bino mu bwangu.
Obubaka buno Katikkiro Mayiga yabuwadde ku Lwokubiri bweyabadde yeebaza Omulabirizi wa West Buganda agenda okuwummula Rt. Rev. Katumba Tamale okulumirirwa n’okulwanirira eddembe ly’omuntu wa bulijjo nga ayogera kwebyo ebitatambula bulungi.
“Abakuba abantu babadde ki, abantu mubaagaza ki, nga n’ente tebakyazikuba! Mu Nsi nga America ne bw’oba obadde ozannya firimu n’otta ekisolo ne bakimanya nti wakisse, bakuvunaana oyinza n’obutaddamu kuzannya firimu, kale oba nga n’ebisolo babiwa ekitiibwa ate olwo abantu?” Katikkiro Mayiga.

Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abantu bonna okugoberera enfuga ey’ amateeka era ng’agamba nti omuntu yenna asangiddwa mu musango, asimbibwe mu kkooti amateeka gamulamule okusinga okumukwasa eryaanyi oba okumusiba awatali kuwoza era n’eddembe lye lissibwemu ekitiibwa.
Bino bijjidde mu kiseera ng’ abantu ab’enjawulo bakyagenda mu maaso n’okuvumirira okutyoboola eddembe ly’ abantu ne bannamawulire mu kalulu ak’ okujjuza ekifo ky’omubaka wa Kawempe North akawanguddwa Munna NUP Erias Luyimbaazi Nalukoola nebasaba ebikolwa bino obutaddamu kulabikako.
Bannamawulire n’abantu abalala bangi bakyali mu malwaliro nga bapooca na bisago oluvannyuma lw’abakuumaddembe abaali bambadde obukookolo obubaligita emiggo n’okubakwata era n’ebintu byabwe nebyonoonebwa.
Mu mbeera eyo, ku Ssande nga 17 Mugulansigo, Pulezidenti Museveni yafulumizza ekiwandiiko nga agamba nti walina okubaawo okunoonyereza ku vvulugu n’emivuyo ebyeyolekera mu kalulu ka Kawempe North ebyalemesa abantu okulondera mu bwenkanya.

Pulezidenti Museveni agattako nti waaliwo okubuzaabuza obukonge obulonderwako, okutaataganya ebyava mu kulonda n’okwonoona bbookisi z’obululu naddala mu Kazo – Angola, ku muzikiti gwa Mbogo n’awalala era akikakasa nti aba Opozisoni baliko obululu bwebabba.