
Bya Ssemakula John
Masengere
Omubaka wa Nakaseke South mu Palamenti, Paulsen Luttamaguzi Ssemakula alabudde gavumenti okukomya okuyingirira ettaka lya Buganda awamu n’ekitongole kya Buganda Land Board kuba kino kyawandiisibwa mu mateeka.
Okulabula kuno Luttamaguzi akukoledde mu Masengere bw’abadde agula emijoozi gya Kabaka Birthday Run egy’omwaka 2021 ku Lwokusatu.
“Newankubadde tugenda okudduka naye tetugenda kuddukira mu bire naye ku ttaka lyaffe erya Buganda, omuntu yenna azannyira ku ttaka lya Buganda, mbadde ndaba abasatuusi abaagala okuleeta omuzannyo ku Buganda Land Board, bino tugenda mu mizannyo naye ekisinga obukulu ttaka.”
“Omuntu yenna aleeta omuzannyo ng’atalina waabwe gy’ava tetujja kumukkiriza, ekisinga okutuluma nga bannabyabufuzi ennaku zino, abantu ba Kabaka beetirira. Buli musatuusi anaazannyiranga ku Kabaka nga tutya nti balina amaanyi.” Omubaka Luttamaguzi bw’ategeezezza.
Ssemakula agamba nti Buganda terina misolo gy’ekung’aanya naye ate efaayo nnyo okutumbula embeera z’abantu ba Ssaabasajja Kabaka ng’eyita mu nteekateeka ng’emisinde okulwanyisa endwadde, emmwanyi Terimba, okuzimbira abeetaaga okubeerwa amayumba awamu n’endala nga gavumenti erina kugikwasizaako so si girumbagana.
Okusinziira ku Luttamaguzi, okusoomoozebwa okwolekedde Buganda sikwangu naye ate tusobola okuwangulwa singa wabaawo obumu.
“Bino tetubigula nti nno ffe tusinga obugagga naye Buganda ye yaffe, Kabaka ye waffe ate tebigenda kuganyula baganda bokka. “Bw’okwata ku Ssaabasajja Kabaka oba otukutte ku mutima. Nze nsobola okwerekereza ekintu ekirala kyonna naye ekikwata ku Buganda nnina okubaawo.” Omubaka Luttamaguzi bw’alambuludde.
Ono akunze abantu ab’enjawulo okujjumbira ensonga eno kuba egattira wamu bannansi era ebibala byayo bizze birabwako.
Emisinde gino gigenda kubeerawo ku Ssande eno, ng’Omutanda yasiimye asimbuleko bannamukisa olw’okusobola okwetangira ekirwadde kya Ssennyiga Corona.









