Bya Stephen Kulubasi
Kampala
Omuloodi wa kampala, Ssaalongo Erias Lukwago, avuddeyo n’asoomooza ekibiina kya NRM, bw’akibuuzizza ekigaanisizza okuleka Kyagulanyi Ssentamu eyavuganya ku bwapulezidenti okwetaaya oba nga ddala akalulu kaali ka mazima. Kino kiddiridde ab’ebyokwerinda okugaana Kyagulanyi okuva mu maka ge okuva akalulu k’obwapulezidenti lwe kalondebwa.
“Lwaki temukkiriza Kyagulanyi okukola emirimu gye bwemuba nga temwabba kalulu. Ye ate bino bizingiramu bitya abantu nga Nubial-Li, Eddy Mutwe n’abalala?” Lukwago bw’abuuzizza, ne yennyamira olwa ky’ayise Pulezidenti Museveni okukola buli kimu okweremeza mu buyinza.
Lukwago alumbye n’Omulamuzi Simon Byabakama gw’agambye nti ye yaliwo nga kisiikirize mu kubala obululu era mbu ye talina kalulu konna ke yabala okuggyako okusoma ebyo ebyamuweebwa. Wano w’agattiddeko nti bulijjo aba NRM basemba naye mbu ne babateerayo akabega wabula mbu ku luno kino tekyasobose olw’abantu okukozesa eriiso ejjogi mu kalulu mbu nekikomekkerera nga Pulezidenti Museveni y’ayambiddwa yekka.
Ku nsonga ya Kyagulanyi okufuna obululu obungi mu bitundu bya Buganda, Lukwago ategeezezza nti abantu baalina ensonga zaabwe nga kwe kuli n’ekyokuba nti Kyagulanyi mwana muzaale waamwo, n’ayongerako nti, “Ab’e Kiruhura baalonda Museveni kubanga mwana muzaale waayo. Abantu balonda omuntu ku lw’ensonga nnyingi nga n’eggwanga ly’omuntu kye kimu ku zo.”
Ebyo ng’obitadde ku bbali, olwaleero kkooti eragidde poliisi okwamuka amaka ga Kyagulanyi Ssentamu era poliisi n’ekkiriza okukiteeka mu nkola, wabula n’etegeeza nti yaakusigala ng’erondoola entambula ze.