Bya Ssemakula John
Lubaga
Bannamateeka b’omubaka wa Lubaga South, Aloysious Mukasa bawakanyizza obujulizi obupya obuleeteddwa Eugene Nassolo ng’awakanya ebyava mu kalulu ka January 14.
Omumbejja Nassolo nga ye yakwata ekyokubiri yaddukira mu kkooti ng’awakanya okulondebwa kwa Mukasa olw’ensonga nti yagulirira abalonzi ng’abawa obukookolo, ssabbuuni, ssukaali n’amatooke ate nga n’ebitabo bye tebiwera.
Leero ku Lwokubiri bannamateeka ba Nassolo okuli; Caleb Alaka, Samuel Muyizzi ne Kenneth Paul Kakande bategeezezza kkooti nti balina obujulizi obulala bwa mirundi etaano bwe baagala okuwaayo mu musango guno.
“Tulina obujulizi obulala bwa mirundi etaano era tusaba kkooti ebukkirize tusobole okubuwaako abawawaabirwa era twetegese okutwala okulung’amizibwa kwonna kkooti kw’eneetuwa.” Kakande bw’ategezeezza kkooti.
Wabula kino bannamateeka ba Mukasa bakigaanye nga bagamba nti etteeka erifuga emisango gy’okulondebwa kw’ababaka terikkiriza kuwaayo bujulizi bulala kuba obudde bw’okuleeta obujulizi bwaggwaayo.
“Omuwaabi (Nassolo) yalina obudde obumala okuleeta obujulizi. Kati wayise emyezi 5 era kkooti tesobola kumukkiriza kubeera ng’akyusa obujulizi buli kadde.” Munnamateeka Justin Ssemuyaba bw’agambye.
Munnamateeka w’akakiiko k’ebyokulonda, Hamidu Lugoloobi akkaanyizza ne Ssemuyaba n’ategeeza nti waliwo ekiseera obujulizi mwe bulina okuleetebwa so si muntu w’abeera ayagalidde.
Wabula bannamateeka ba Nassolo nga bakuliddwa Caleb Alaka bategeezezza nti kye bakoze kwe kusaba kkooti erabe oba enakkiriza obujulizi bwabwe era kiri eri mulamuzi okubukkiriza oba okubugaana kuba baakosebwa nnyo embeera y’omuggalo ne balemererwa okuwaayo obujulizi mu budde.
Omulamuzi Winifred Nabisinde omusango agwongeddeyo okuwa ensala ye ku bujulizi buno okukkirizibwa oba nedda.