
Bya ssemakula John
Kampala
Munnakibiina kya ‘National Unity Platform (NUP)’, Latif Ssebaggala alangiridde nti, avudde mu lwokaano lw’okuvuganya ku bwa Loodimmeeya.
Ssebaggala. Agambye nti kino akikoze okugatta ekibiina ekibadde kitandise okweyawulamu olw’abantu abamu balowooza nti kkaadi teyamuweereddwa mu bwesimbu.
Bino Ssebaggala yabitegeezezza bannamawulire abamusanze ku kitebe ky’ekibiina ku Lwokubiri wano mu Kampala.
“Nkyali mu NUP era nga ng’enda kuwagira Robert Kyagulanyi Ssentamu okutwala obukulembeze bw’eggwanga,” Ssebaggala bwe yagambye.
Kino kiddiridde munne gwe babadde bavuganya ku kkaadi Joseph Mayanja amanyiddwa nga Chameleone okuwandiikira akakiiko k’ekibiina ak’ebyokulonda nga yeemulugunya ku ky’okuwa Ssebaggala kkaadi ng’agamba nti yabadde nsobi erina okutereezebwa.
Ssebaggala asabye abawagizi b’ekibiina kya NUP okumutegeera obulungi kuba kino akikoze ku bulungi bwa Kibiina n’asuubiza okubanjulirira ky’agenda okuzzaako mu maaso awo.
Gambuuze g’afunye mu nsonda ezeesigika galaga nga Latif Ssebaggala bw’ayinza okugenda ku bubaka bwa Palamenti obw’omukago gwa East Africa.
Ono abadde akyalemeddwa okusalawo ku kifo ekituufu ky’ayagala nga waliwo lwe yayagala addeyo ku bubaka bwa palamenti obwa Kawempe North ate olulala n’ategeeza nti ajja okusingukulula Loodimmeeya Erias Lukwago.
Abakungu ba NUP baavuddeyo ne bategeeza ku wiikendi ewedde nga Kkaadi bwe baagiwadde Ssebaggala olw’okuba alina obumanyirivu mu by’obufuzi ate ng’abaddewo nnyo ku lwa Bobi Wine.
Kkampu ya Chameleone bino yabiwakanyiza n’etegeeza ng’omuntu waabwe bw’akoze ennyo okuleeta enkyukakyuka ng’ayimbira Bobi Wine ennyimba.
Bano bakkiriza nti kituufu omuntu waabwe talina bumanyirivu naye bulijjo Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) asaba abavubuka okwenyigira mu by’obufuzi era beebereremu nga kino ne Chameleone ky’akola.
Kati ekirindiriddwa kwekumanya ppulaani empya Ssebaggala gy’asuubizizza okulangirira.








