
Bulemeezi ewangudde empaka z’emipiira gy’amasaza bwekubye Busiro goolo 1-0.
Kyaddondo ekutte kyakusatu oluvannyuma lw’okuwangula Buddu goolo 2-1.
Ssesse lye Ssaza eriwangudde ekirabo ky’empisa.
Omugenyi wa Kabaka ow’enjawulo okuva mu UNAIDS, Natalie Rigard, azze okulaba engeri obuganda gyebubugirizaamu Omutanda n’ekigendererwa eky’okusaasaanya enjiri ey’abasajja okubeera abasaale mu kwekebeza akawuka ka mukenenya.