Bya Musasi waffe
Bunyoro
Eyeesimbyewo ku kkaadi y’ekibiina kya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu, yeeyamye okukyusa ekitundu kya Bunyoro kikulaakulane singa anaalondebwa ku bwapulezidenti.

Kyagulanyi yasinzidde mu kunoonya akalulu mu kitundu kino eggulo ku Lwokusatu, ku ssomero lya Kagadi Model Primary School e Kagadi.
Ono yagambye nti wadde ekitundu kino kye kimu ku bisinga obugagga nga balina amafuta, ennyanja Albert, ebibira wamu n’ekkuumiro ly’ebisolo tewali kalungi ke bafunyemu, n’abasaba bamwesige bamulonde.
“Amakubo gonna mafu, Bunyoro ngagga nnyo naye ate abanyoro baavu, nnyo. Tukimanyi bulungi nti ebyobugagga bya Bunyoro era bya Uganda yonna naye birina kusooka kuyamba Bunyoro.” Kyagulanyi bwe yakukkulumye.
Yasabye abantu okukyawa obukulembeze bwa Pulezidenti Museveni kuba yabasuulawo.
Ono yakiggumiza nti Uganda Museveni agivugira ku kikubo kyattaka era n’akunga bannayuganda okwerwanako balonde Kyagulanyi kuba Museveni ne banne balemeddwa okukulembera eggwanga lino.
Kyagulanyi yagasseeko nti bannayuganda bonna bakooye obukulembeze bwa Museveni era ng’akaseera katuuse bamuggyemu obwesige ensi esobole okutereera.
Yanokoddeyo enguzi, obusosoze, ebyobulamu n’ebyenjigiriza ebifu, ebbula ly’emirimu n’obwavu, ebiremye Museveni okukolako okumala emyaka 34, n’asuubiza okubikolako singa anaalondebwa.
Kyagulanyi yaweze okutandikira ku kibbattaka ekisimbye mu Bunyoro kubanga kimanyiddwa nti abakungu ba gavumenti be basengula abantu ku ttaka lyabwe mu kitundu kino.
Bwe yabadde anoonya akalulu mu Bunyoro, Kyagulanyi yeggase ku bannaddiini okuwakanya ekya gavumenti okuwaayo ekibira kya Budongo eri aba Hoima Sugar Limited balimireko ebikajjo.
Bwe yavudde e Kagadi, Kyagulanyi yeeyongeddeyo e Kibaale wakati mu kuwerekerwa abawagizi be wabula poliisi n’emulemesa okukuba enkung’aana ku Kibedi Primary school mu ggombolola y’e Nyamarunda ne ttawuni kkanso y’e Karuguza.
Kyagulanyi yatabukidde ab’ebyokwerinda olw’okulaga kyekubiira era nga olunwe yalusonze mu Minisita w’ebyenfuna, Matia Kashaija, gw’agamba nti teyayagadde mukama we kumanya nti abanyoro baamukoowa.








