Bya Ssemakula John
Kampala
Akulira ekibiina ki National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu alabudde abakulembeze mu kibiina abakozesa enteekateeka ya ‘Kunga’ okubaako byebeenoonyeza nebaleka okutuukiriza ebigendererwa by’ ekibiina.
Obubaka buno Kyagulanyi abukoledde mu makaage e Magere mu Kyaddondo bw’abadde asisinkanye banna Kalungu East abamukyaliddeko ababadde bakulembeddwamu omubaka Joseph Ssewungu, nabasaba okukola ennyo okwagazisa abantu ekibiina.
Kyagulanyi agamba nti wadde enteekateeka eno yali ereeteddwa okuleeta obumu mu kibiina basobole okwegobako obukulembeze bwa Pulezidenti Museveni mu kifo ky’okwagazisa abantu ekibiina.
Ono alabudde bagamba nti bali mu kwetega nakweyagaliza bifo na kkaadi z’ekibiina mu kulonda okuddako mu kifo ky’okukolera ebigasiza awamu ekibiina.
Ababaka b’e Kalungu okuli Hon Ssewungu Joseph ne Francis Katabaazi babuulidde Kyagulanyi nti entalo nyingi eziri e Kalungu mu by’obufuzi, nti ng’ate ababalwanyisa sente baziggya mu gavumenti nebasaba abeeko kyakolawo.
Eyasomye alipoota y’ abawagizi ba NUP e Kalungu, Henry Tusuubira ategeezezza nti abamu ku bakulembeze bebaalonda mu bifo bya gavumenti ez’ebitundu bakyusa dda enkola,akadingidi bakuuta ka kibiina ekiri mu buyinza.