
Bya Ssemakula John
Kampala
Akulira ekibiina kya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi, alabudde banne bwe bali ku ludda oluvuganya, okwewala okuweebwa enguzi okuva mu gavumenti ng’eyagala basuulewo eby’okugivuganya n’okununula bannayuganda.
Bino Kyagulanyi abyogeredde mu lukung’aana lwa bannamawulire olutudde ku kitebe kyabwe e Kamwokya n’alaga okutya ku bigambo ebiva mu bamu ku bantu abaali bamanyiddwa okubeera aba Opozisoni n’akakasa nti ebikolwa byabwe biyamba kunywereza Pulezidenti Museveni mu buyinza.
Kyagulanyi agamba nti olutalo lwe balimu lwakwawula kikyamu ku kibi n’asaba abamu ku bantu abavudde mu bitundu by’e Kasese, Teso ne mu Mambuka g’eggwanga okwerinda abo abaagala okubagulirira.
“Temwewuunya bwe muwulira nga abamu ku bannaffe mu Opozisoni bagyabulidde olw’ensonga nti baweereddwa ssente.” Kyagulanyi bw’alabudde.
Ono era azzeemu okuvumirira gavumenti n’ekibiina kya NRM ku nsonga y’obusosoze mu mawanga bw’egamba nti ekoma ku kubwogerako naye terina ky’ekola kulaba nti bukendeera.
Mu ngeri yeemu ababaka b’ekibiina kino ekya NUP nga bakulembeddwamu Joel Ssenyonyi owa Nakawa West, Ronald Balimwezo owa Nakawa East n’abalala balambudde abavubuka abaakomezeddwawo emmotoka ey’akazibwako erya Drone abaali baakwatibwa gye buvuddeko ku nsonga ezeekuusa ku by’obufuzi nga baabasanze mu ddwaliro e Kitintale
Ku bano kuliko Yasin Busuulwa ne Vicent Okwale nga bano baakomezeddwawo nga bali mu mbeera mbi ddala
Kigambibwa nti Yasin Busuulwa yasuulibwa Kitintale ku Kasooli Stage ku ssaawa nga 12 ez’akawungeezi wabula ng’ali mu mbeera mbi ate ye Vicent Okwale baamusudde Mbuya aba Red Cross gye baamuggye ne bamutwala e Naguru.
Ababaka bano bennyamidde olw’ebikolwa bino ebikolebwa ku bantu n’akubiriza gavumenti okuta n’abalala abasigaddeyo nebasaba bannansi okumanya nti ensonga zino si zakusaaga.









