
Bya Francis Ndugwa
Kamwokya – Kyaddondo
Akulira ekibiina kya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) alabudde obutakkiriza Gen Yoweri Museveni okubaggyako eddembe lyabwe okwerondera omukulembeze w’eggwanga nga bayita mu kalulu.
Bino Kyagulanyi abyogeredde mu lukung’aana lwa bannamawulire lw’atuzizza ku kitebe ky’ekibiina kye e Kamwokya ku Lwokusatu.
“Bannayuganda bannange mbabuulira nti bitandika bwebiti mu mawanga ga bannakyemalira abasinga abakadiyidde mu ntebe ne balekawo batabani baabwe ne bazzukulu baabwe bwebityo bwebitandika. Njagala okubategeeza nti bino si byakusaaga, bulijjo bitandika nga byakusaaga ne Museveni asooka ku byegaana naye njagala okubategeeza nti guno gwe mukisa gwammwe ogusembayo.” Bw’atyo Kyagulanyi bw’ategeezezza.
Kyagulanyi agamba nti kano katego Gen. Museveni k’ataddewo mw’ayagala okuyita akakatike mutabani we Gen Muhoozi Kainerugaba ku bannayuganda kubanga akimanyi tebasobola kumulonda mu kalulu.
Bobi Wine alabudde nti singa eddembe lino liggyibwa ku bantu nga tebakyasobola kulonda mukulembeze waabwe bajja kuba bafuuse abaddu mu nsi yaabwe nga noolwekyo beetaaga okwerwanako.
Ku nsonga eno abatunulira ebyobufuzi balowooza nti mu kaseera kano Gen. Museveni kino ky’alina kubanga akimanyi bulungi nti takyalina maanyi gatalaaga ggwanga kunoonya Kalulu, abalala balowooza nti ne bw’aba ayagala kusikiza Mutabani we era akulira amagye g’oku ttaka, Lt. Gen. Mujoozi Kainerugaba era kino kirina kukolebwa ng’ayita ku kaweweevu mu kukwata obuyinza.
Era singa ekiteeso kino kinaaba kireeteddwa ne lifuuka etteeka gujja kuba mulundi gwakusatu ng’ababaka batigiinya Ssemateeka n’okusinga obuwayiro obuwa abantu eddembe kyabwe obutereevu ku bakulembeze nga ogwasooka kwali kuggyawo kkomo ku bisanja okuva ku bibiri mu 2005, 2017 ababaka baggya ekkomo ku myaka omuntu kw’alina okuvuganyizaako ku ntebe y’obwapulezidenti ng’abavuganya NRM kino balowooza nti kyakolebwa mu mutima oguyamba Gen. Museveni okwenywereza mu buyinza.









