Bya Ssemakula John
Nattale – Busiro
Akulira ekibiina ki National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine ategeezezza nti omugenzi Dr. Paul Kawanga Ssemogerere agenze okufa nga yamubbirako ku bantu abatemula Lutaakome Kayiira.
Okwogera bino Kyagulanyi abadde yeetabye ku mukolo gw’okuziika Dr. Ssemogerere e Nattale Nkumba mu Busiro ku Mmande.
“Dr. Ssemogerere bwennamusisinkana yambuulira ku byaliwo nga Lutaakome Kayiira attibwa. Yeyali Minisita w’ensonga zomunda era yamanya bingi. Abali wano abakolera Museveni njagala mumanye era naye mumugambe nti mbimanyi. Mu kiseera ekituufu ensi ejja kumanya,” Kyagulanyi bw’ategeezezza abakungubazi.
Kyagulanyi annyonnyodde nti ensonga eno agimanyi bulungi era amazima ajja kugoogera ekiseera ekituufu nga kituuse naye abakikola bakimanye nti ensi ebamanyi.
Ono agamba nti Dr. Ssemogerere yeyamuyigiriza okuba omukulembeze owabantu bonna so ssi owa Kabira gyanvaamu era abadde musomesa ow’ekyokulabirako eri abalala.
Okusinziira ku Kyagulanyi, Dr. Paul Kawanga Ssemogerere ne Jjajja we, Yozefu Walakira balina Oluganda olw’omukago era nawera okwongerayo enkolagana eno .
Kyagulanyi ategeezezza nti Dr. Ssemogerere yamuyigiriza okumanya bw’alina okukolagana n’amawanga amalala awamu n’eddiini ez’enjawulo okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe.
Ono agasseeko nti wadde omugenzi amaze emyaka 90 ku nsi naye tafunye mukisa kulaba nga Uganda eronda omukulembeze nalayizibwa mu mazima n’obwenkanya ekintu kyalwaniridde ebbanga lyonna.
Kyagulanyi annyonnyodde nti ekimu ku Dr. Ssemogerere byafudde nga yeewuunya y’engeri Pulezidenti Yoweri Museveni gyeyakyuka natandika okukola ebintu Milton Obote byeyali akola okuli okubba obululu n’okutulugunya bannansi.
Ono aweze okutwala mu maaso ebyo omugenzi byabasomesezza okusobola okulwanirira Demokulaasiya awamu n’enfuga ey’ amateeka.