Bya Ssemakula John
Kampala
Essaza lya kyaddondo erikulembera Kaggo Agnes Ssempa Nakibirige, linywedde akendo mu masaza gonna amalala 17 mu kuvuganya okw’omwaka 2020/ 2021.
Okusinziira ku alipoota eyafulumiziddwa Minisita omubeezi owa Minisitule ya gavumenti ez’ebitundu, Owek. Joseph Kawuki, eraga nti Kyaddondo y’esinze okutereeza enzirukanya y’emirimu mu masaza gonna mu kaweefube agendereddwamu okulaba nti buli kimu kikolebwa mu bulung’amu.
Mu nkola eno amasaza gonna gabadde gawakanira obubonero 100 nga buno bubadde bugaweebwa okusinziira ku bwe gakola mu bipimo ebyenjawulo ebyateekebwawo Minisitule ya gavumenti ez’ebitundu, okutumbula emirimu n’obwerufu.
Gye biggweeredde nga Kyaddondo ewangudde n’obubonero 80.2 ku 100 ate Bulemeezi n’eddirira n’obubonero 65.29, Kyaggwe 55.25 , Mawokota n’eddako ne 54.9 ate Butambala n’eddako n’obubonero 54.84 ku buli 100.
Buddu ekutte kyamukaaga n’obubonero 49.39, Busiro ne Busujju ne ziddako ate Bugerere n’egoberera. Kuno kuzzeeko Kabula, Mawogola ne Gomba ate Ssese ne Ssingo ne bagoberera. Ssingo ekutte kifo kya 14 ne kuddako Kkooki ne Buluuli ate Buweekula n’ekwata kya 17 olwo Buvuma n’ekoobera mu kifo kya 18.
Minisita Kawuki ategeezezza nti ebipimo ebyatunuuliddwa mu mpaka zino kwe kulaba engeri essaza gye likwatamu emirimu egyessalira, okuwa alipoota, okwesimba mu byensimbi, enkolagana mu baami, obujjumbize mu nkiiko awamu n’okugoberera ennambika eyabaweebwa.
Ebirala kwe kwoleka mu mawulire emirimu egikolebwa abaami, enkozesa ya tekinologiya, enkozesa n’okukuuma ebyobugagga bya Buganda ebiri mu ssaza, n’okunyweza gavumenti ku mitendera egiddako.
Owek. Kawuki asiimye obukulembeze bw’amasaza okuli; Kyaddondo, Kyaggwe ne Mawokota, olw’obunyiikivu ng’okuviira ddala mu 2015 amasaza gano gabadde gakola bulungi.
Enteekateeka eno egendereddwamu okutumbula enkolagana wakati w’abaami b’amasaza bonna era nga Minisitule ya gavumenti ez’ebitundu ekkiriza nti emirimu gigenda kutumbulwa n’okuziba emiwaatwa gyonna awamu n’obugayaavu obubadde bweyolekera mu mirimu.