Omu ku bazungu abaasookera ddala okutuuka mu Buganda awandiika engeri gye yatwalibwa okusisinkana Ssekabaka Muteesa I. Agamba nti yayita mu nguudo engazi ng’ayolekera Olubiri lwa Kabaka era annyonnyola ekibuga Kampala nga “Garden City” (ekibuga eky’ennimiro).
Simanyi oba abaatuuma ekizimbe obwaguuga Garden City baasoma ku bigambo bya muzungu oyo oba babirinako akakwate, naye bigambo bikulu nnyo mu mboozi gye nzize okunyumya olwaleero.
Charles Onyango Obbo (COO) omu ku bannakinku abawandiisi b’ebirowoozo mu lupapula lwa Monitor, olumu yawandiika emboozi mwe yasiigira ekifaananyi Buganda bw’eyinza okulabika mu myaka ng’ataano mu maaso.
COO nga bw’atera okuyitibwa yalaga nti emyaka ataano mu maaso, Buganda yonna kijja kuba kibuga bwaguuga.
Yasinziira ku bungi bw’abantu abeeyongera buli kiseera, kumpi buli munnayuganda okwagala okujja e Kampala oba e Buganda n’engeri gye kireetedde obubugabuga n’ebibuga okumerukawo oba okugaziwa mu kaseera mpaawokaaga, kyokka ng’enkulaakulana eno sinteeketeeke ate era teteekeddwateekeddwa.
Ebigambo bya Charles Onyango Obbo byankwatako nnyo era byandeetera okwebuuza ebibuuzo bingi. Singa okulagula kwa Charles Onyango Obbo kutuukirira, kirikosa kitya obuwangwa bwaffe? Singa okulagula kwa COO kutuukirira, abaana baffe oba abazzukulu balifuna omukisa okumanya ekyalo ky’Omuganda nga bwekyabeeranga?
Singa ebigambo bino bituukirira tulisigaza ku nsuku ez’amatooke nga bwe tuzimanyi nga zigudde akaleka era nga zirimu emiti egy’emituba egitumbidde waggulu mu nsuku zino? Singa ebigambo bino ddala bibeera nga bwe yabiwanuuza, Buganda erisigala Buganda nga bwe twandigyagadde ebeere? Mmengo ensonga eno egirowoozaako?
Ggwe wenna asoma ebigambo bino, simanyi gy’osibuka naye nze kankuwe gye nva nkulage okusoomooza okw’amaanyi okutwolekedde. Ewaffe we nkulidde mu Kabuga Nyendo, mw’osooka nga tonnayingira kibuga Masaka.
Emyaka nga 30 emabega, Nyendo yali emanyikiddwa lwa Nseenene era tobeera mukyamu bw’ogamba nti be baavumbula tekinologiya w’okukwata enseenene mu Uganda.
Wabula wadde enseenene zajjanga olw’amataala amawanike mu bbanga negatinta ekiyitiridde, enseenene zino zaabeeranga n’ensiko mwe zaagwanga okumpimpi oba zandiba nga zaabeeranga n’embalama oba ensiko mwe zaabiikanga amagi olwo negaalula mu bitundu ebitali wala na Nyendo.
Emyaka bwe gigenze gyetooloola, abantu nebazimba, nebalima oba nebateeka enkulaakulana kumpi buli wamu, enseenene zigenze zeeveera era kati enseenene eziriibwa mu Nyendo, ziggibwa walala Bannanyendo nebazigula.
Enseenene okweveera kyakosa nnyo ebyenfuna bya Nyendo kuba mmanyi bangi abaakwatanga enseenene olwo mu wiiki emu yokka n’atuusa emmotoka empya n’ennyumba n’azimba. Kale ebyenfuna bikyuka era oyinza okusiga ewalala naye olwo ab’ekika ky’Enseenene bo basigadde wa?
Enseenene ze tulaba zizze zikendeera buli kiseera, olumu tulikeera nga teziriiwo ate n’okuzirunda sikiwa nti kiribeera kyangu nga bw’oyinza okuteeka empologoma, engabi oba engo mu kkuumiro ly’ebisolo. Rev. Dr. Fr. Mbaziira yandiba nga yawandiika ekitontome ekyatunyumira “Enseenene zizaalibwa wa?” Naye si ky’ekiseera tusukkeko awo tufeeyo okukuuma enseenene n’okugwa kwazo obutafuuka lufumo? Ye omwezi Museenene tuligunnyonnyola tutya eri abaana baffe? Olwobutalabika ng’alandazze ennyo kanneme kunyumiza ebinyonyi ebyakeeranga okubuuka mu bungi okuva mu lusaalu ku nkya kumpi era nebidda akawungeezi kati ebitakyaliwo. Nze ng’eyalaba ebinyonyi ebyo nga nkyali mwana muto, ndowooza ssente z’obulambuzi ze twandibadde tuyoola, singa bikyaliwo.
Eyo mbadde mpitiddeyo buyitizi. Nyendo mwe nakulira yeetooloddwa ebyalo ebiwerako wadde we nakulira ne Nyendo yalimu ensuku zennyini omwali n’ebiggya by’abantu. Kanneme kwogera ku byalo abamu bye muyinza okuba nga temumanyi wabula kanjogere ku kyalo Mukudde okusangibwa amaka ag’ebyafaayo aga Mukudde nga kigambibwa wano Ssekabaka Muteesa Owookubiri yawummulirangawo mu buto bwe.
Ekyalo kino okuggyako nga waliwo enteeketeeka ey’enjawulo we twogerera abalinako ebiggya abasinga batunze ettaka oba bazimbyeko emizigo egipangisibwa olwo ebiggya nebisigala mu kyangaala nga tebirina wadde omuti ogubibudamya omusana oba ebitooke ebyebunguludde.
Abalala osanga emizigo egipangisibwa amazzi agava mu binaabiro gayiika mu biggya. Omufirika ne bw’anaagenda kukolimirwa nga bw’abungeeta ate mu kutya emizimu gy’abawarabu n’abayudaya, ddala okola otya abafu bo ekivve ng’ekyo?
Oluusi ntambula mu bitundu bino ne mbula okukaaba nga ntunuulira abantu abeetoolodde wonna nga tebalina mulamwa bakeera kuleereeta nga tebalina wadde omulamwa ogusukka ku kunoonya emmere ya leero.
Nga Munnazambogo eyatendekebwa okufaayo ku biseera by’omu maaso ebya Uganda, nsaba buli alumirirwa Obuganda okufaayo okulaba nti enkulaakulana mu Buganda tebeera ya kyemeza. Erina okulambikibwa bwetuba baakwewala nkulaakulana ey’obulabe eri obuwangwa bwaffe.
Nyendo n’ekyalo kya Mukudde biri wansi w’olusozi Misaali. Misaali lusozi lwa byafaayo nnyo eri Buganda naye ekiri eyo. Waamerukayo obuyumbayumba obutali ku ppulaani, kaabuyonjo y’ono ate etunudde mu mulyango gw’oli kyokka nga waliyo n’ekiggwa ekikulu ennyo eri Obwakabaka, anti Ssekabaka Jjunju bwe yali awangula essaza Buddu okuliggya ku Bunyoro, olutabaalo olwasalawo eggoye lwali ku mutala Misaali.
Kati engeri gy’olambuza Kyeruppe oba kale omuntu wa wano nti wano olutalo olwaleeta Buddu mu Buganda we lwawangulirwa, ng’omuntu atunuulidde buyumbayumba obutategeerekeka, kiswaza.
Mu kuwumbawumba, abantu baffe bandyesanga mu maaso nga tebakyalina waakuziika bantu baffe era tulibeera tutuuse okukoppa abayindi abookya abaabwe nebatereka evvu mu ccupa. Obuwangwa busibuka ku mbeera gye weesangamu.
Emizigiti obutabaamu ntebe kisibuka ku bbulwa lya miti mu ddungu ewasibuka eddiini eyo nga mwe mwandikoleddwa ebituulwako era n’Abayindi okulya ennyo kaamulali kakodyo ka kulya mmere ntono n’ogattawo amazzi olwensonga nti bangi nnyo ate emmere ntono.
Noolwekyo abaana baffe n’abazzukulu bwe tutegendereza twandyesanga nga mu myaka ataano mu maaso, ebyobuwangwa byaffe bikyuse, birala nnyo nga we tuli tukyatemya. Ekibuuzo ekikulu, Buganda bw’eribeera yaakufuuka kibuga wonna awamu, kirifuuka kitya ekibuga ekyennimiro? Nze naawe.
Ssaabasajja Kabaka Awangaale.
Lukyamuzi Joseph
Omuwandiisi Munnamawulire