
Bya Ssemakula John
Kampala
Kkooti esookerwako eri ku ttendekero lya ‘Law Development Centre’ (LDC) mu Kampala ekkirizza Ssaabawaabi wa gavumenti okuggya emisango ku Pulezidenti wa NUP, Robert Kyagulanyi gy’abadde avunaanibwa ku kuyingira mu Settendekero wa Makerere mu bukyamu.
Munnamateeka Male Mabirizi yali yaddukira mu kkooti n’aggula omusango ku Kyagulanyi eyatikkirwa okuva ku ssettendekero ono emyaka 20 emabega ne dipulooma mu by’akatemba n’ennyimba (MDD) Mabirizi ky’agamba nti kyali kimenya mateeka era yali tasaanidde kuyingirayo.
Mabirizi agamba nti Kyagulanyi yayingira e Makerere ng’alina emyaka 20 mu 2000 n’awandiisibwa okusoma MDD ng’omuntu omukulu ekintu ekyali ekikyamu mu myaka gya 1999/2000-2000/2001 kuba omuntu okusomerayo yalina okubeera n’emyaka 25 ekitono oba yalina okubeera ng’amaze emyaka 5 ng’amalirizza okusoma.
Wabula DPP yeddiza omusango guno kyokka bwe waayita akaseera n’asaba kkooti emukkirize aguggyeyo ekintu ekyatabula Mabirizi n’akiwakanya.
Eggulo ku Mmande, Omulamuzi wa kkooti eno, Augustine Alule yawadde ensala ye n’akkiriza Ssaabawaabi wa gavumenti okuggyayo omusango guno nga bwe yali asabye.
“ Omulimu gwa kkooti kuwa lukusa singa Ssaabawaabi abaako omusango gw’ayagala okutwala oba omusango gw’ayagala okuggyayo era tateekeddwa kuwa nsonga lwaki,” Alule bw’ategeezezza.
Wabula Mabirizi agamba nti terunnaggwa era ajja kuggulawo omusango omulala ku nsonga eno mu kkooti e Nabweru kuba Makerere eri mu Kawempe, okutuusa ng’afunye obwenkanya.









