• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Eby'obufuzi

Kkooti esazizzaamu akawaayiro nnamba 25 ak’ etteeka lya ‘Computer  Misuse ‘

Gambuuze by Gambuuze
January 10, 2023
in Eby'obufuzi
0 0
0
Kkooti esazizzaamu akawaayiro nnamba 25 ak’ etteeka lya ‘Computer  Misuse ‘
0
SHARES
27
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Kampala

Kkooti etaputa Ssemateeka esazizzaamu akawaayiro nnamba 25 ak’ etteeka lya ‘Computer Misuse’  akagufuula omusango singa omuntu akozesa essimu oba Kompyuta okumalako omulala emirembe gye.

Akawaayiro kano kabadde kateeka omusango gw’okuvvoola omulala era nga kateekawo ekibonerezo kya myaka 5 singa omuntu omusango gumusinga.

Leero ku Mmande Abalamuzi bonna aba kkooti etaputa Ssemateeka bakkiriziganyiza akawaayiro kano kasuulibwe kuba tekategeerekeka bulungi ate nga era kalemwa okunnyonnyola obutereevu omusango ogubeera guziddwa.

Kkooti egamba nti akawaayiro kano kabadde katyoboola eddembe ly’okweyogerera, Ssemateeka lyawa bannansi.

Abalamuzi bano nga bakuliddwamu omumyuka wa Ssaabalamuzi, Richard Buteera bagamba nti tewali nsonga ebadde erekesaawo kawaayiro kano ng’ate Uganda nsi ya Demokulaasiya era essa ekitiibwa mu ndagaano z’ensi yonna ezoogera ku ddembe ly’ abantu eritali limu.

Olw’ensonga eno, Kkooti eno esazeewo akawaayiro kano kaggyibwemu era bwetyo neragira abawaabi okuli Andrew Karamagi ne Robert Shaka baliyirirwe.

Ensala eno esanyudde abamu ku balwanirizi b’eddembe nga munnamateeka Eron Kiiza agamba nti ensala eno ebasanyudde kuba akawaayiro kano kabadde kalinyirira eddembe ly’obuntu.

Ennoongosereza mu tteeka lya ‘Computer Misuse’ zateekebwako omukono Pulezidenti Yoweri Museveni mu October w’omwaka oguwedde  era kino kyawaliriza ekitongole ky’ ensi yonna ki Amnesty International okusaba etteeka lino lisazibwemu kuba lya kisibiramubbwa.

Share this:

  • Twitter
  • Tumblr
  • Pinterest
  • Pocket
  • WhatsApp
  • Skype
  • Telegram
  • LinkedIn
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist