
Bya Ssemakula John
Kampala – Kyaddondo
Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road, Dr. Douglas Singiza ayisizza ekibbaluwa kibakuntumye ku bantu bonna abeeyimirira omuwandiisi w’ebitabo Kakwenza Rukirabashaija olw’okulemererwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe obwokuleeta omuntu gwebeyimirira mu kkooti nga emwetaaze.
Omulamuzi Dr. Douglas Singiza agamba nti bano 4 balina okusasula obukadde 10 buli omu oba okusibwa kuba kkooti yabeesiga kyokka nebalemererwa okumatiza Kakwenza okudda mu kkooti.
Bano kuliko; Munnamateeka Julius Galisonga, Ssaabawandiisi wa National Unity Platform – NUP David Lewis Rubongoya, Anna Ashaba ng’ono musomesa ku Kololo Secondary School awamu ne Job Kaija.
Kinajjukirwa nti oluvannyuma lw’okuyimbulwa ku kakalu ka kkooti Kakwenza yaddukira mu ggwanga lya Bugirimaani oluvannyuma lw’okusaba kkooti olukusa negaana nga agamba nti yali agenze kufuna bujjanjabi kuba yatulugunyizibwa nnyo ab’ebyokwerinda mu bbanga lyeyamala nga akwatiddwa.
Wiiki ewedde bano kkooti yabayita okweyanjula gyeri leero ku Mmande bannyonnyole lwaki balemeddwa okuleeta Kakwenza mu kkooti ate nga bakyeyama.
Olwa leero ku Mmande, Omulamuzi Dr.Douglas Singiza alagidde bonna 4 bakwatibwe.
“ Ndagidde poliisi okukwata abana bano abeeyimirira mu musango guno. Bwebanajja mu kkooti ne ssente zino obukadde 10 buli omu, obuvunaanyizibwa bwabwe bujja kubagyibwako n’ebibaluwa ebiragira okubakwata bisazibwemu,” Omulamuzi Singiza bw’ategeezezza.
Okusooka, Omuwaabi wa gavumenti, Joan Keko asabye kkooti okukaka abantu bano bonna okuwaayo ssente obukadde 10 ezakakalu ezitaali zabuliwo era bannyonnyole kkooti lwaki tebalina kukwatibwa kuba Kakwenza talabikako.
Wabula munnamateeka wa Rubongoya ne Ashaba, Samuel Wanda kino akiwakanyiza nategeeza nti eky’okubakwata si kyekirina okusookerwako nasaba kkooti esooke ebasabe ssente zebeeyama nga tebanakwatibwa.
Bbo bannamateeka ba Galisonga ne Job Kaija okuli Josephine Nasasira ne Ivan Bwowe basabye kkooti abantu babwe babaggyeko obuvunaanyizibwa bw’okweyimirira Kakwenza ekintu omulamuzi kyagaanye nti tekikyasoboka kudda mabega era omusango gulina okugenda.
Omulamuzi Singiza agamba nti abantu bano 4 abeeyimirira Kakwenza tebamanya buvunaanyizibwa bwabwe nga beetaaga kkooti okubeera nga ebajjukiza ekintu kyetagenda kukola.
Omusango gwongezeddwayo okutuuka May, 11, 2022, Kakwenza avunaanibwa okukozesa olulimi oluvvoola navuma Pulezidenti Yoweri Museveni ne Lt. Gen. Muhoozi Kainerugaba.









