Musasi waffe

Kkooti enkulu mu Kampala esazizzaamu ekibonerezo ekyali kyaweebwa Lililian Aciro, omukyala alina abaana omusanvu olw’okujeemera ebiragiro by’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni eky’obutatambula mu budde bwa kafiyu atandika essaawa emu eyakawungeezi n’akoma essaawa kumina bbiri en’ekitundu ez’okumakya.
Omukulemelembeze w’eggwnga yassaawo ebiragiro eby’enjawulo okusobola okulwanyisa ekirwadde kya ssenyiga omukambwe owa coronavirus.
Aciro kukibonerezo eky’emyezi esatu yali akikola wamu ne; Rodgers Keyi, Josephat Aceyi , Brenda Akao, Ben Aleper, James Jamel Alumal, Mary Nambi, John Paul Burusi, Felix Nyeko, Jackson Kamwaga, Daniel Muwanguzi, Tonny Kaziba, Isa Wapisa, Hassan Anguzo, Benard Atoroti, Fred Walusimbi, Josephine Acen. Gasi Madalema, Kerry Owori ne Akram Mwanje.
Bano omulamuzi wa kkooti ento etuula ku Buganda Road ng’ekulembeddwamu omulamuzi Stella Maris Amabilis eyali abasindise mu kkomera e Kigo.
Kyokka omulamuzi wa kkooti enkulu Justice Wilson Kwesiga yagambye kkooti ya Buganda Road yakola ensobi mukuwuliriza omusango guno.
Yagambye tekikkirizibwa kuwozesa abantu bataliiwo.
Bano yalagidde bayimbulwe mangu kubanga eddembe lyabwe ery’okuwulirwa lyali lirinyiriddwa.
Bya URN