Bya Ssemakula John
Bulemeezi
Omwami wa Ssaabasajja Kabaka atwala essaza ly’e Bulemeezi, Omulangira Ronald Mulondo, alabudde ku busosoze ku ddiini n’amawanga naddala mu by’obufuzi ekintu, ekiyinza okulemesa Buganda ne Uganda okugenda mu maaso.
Bino Mulondo abyogeredde mu ggombolola y’e Musaale Wakyato mu disitulikiti y’e Nakaseke, bw’abadde atongozza kaweefube w’okulambula amasaza gonna agali mu Bulemeezi okutongoza enkiiko z’ebitongole ezidukkanya emirimu egy’enjawulo ku ggombolola zino.
Mulondo asiimye abaami ba Kabaka olw’okuwaayo n’okuweereza obuteebalira, okugatta abantu b’Omutanda wamu n’obutatiirira Ssaabasajja era nga kino kiyambe okutumbula emirimu ku ggombolola n’emiruka egy’enjawulo.
Abasabye okutumbula enkolagana wakati w’Obwakabaka ne gavumenti eyaawakati era bajjumbire ne pulojekiti ezireetebwa okweggya mu bwavu basobole okukulaakulana.
Kkangaawo Mulondo era asinzidde wano n’agumya abantu abali ku ttaka ly’Obwakabaka nti tewali muntu agenda kubagoba ku ttaka era n’abasaba okuwa Obusuulu eri ekitongole ekivunaanyizibwa ku ttaka lino okusobola obutatawanyizibwa.
Abaami b’eggombolola abalagidde okukozesa ettaka ly’eggombolola okuteekawo pulojekiti ez’enjawulo ezisobola okubayambako okuyingiza ssente mu nsawo, zitambuze emirimu gya Nnyinimu.
Ye omwami wa Kabaka atwala eggombolola ya Musaale Wakyato, Ssengooba Steven, ategeezezza nti oluvannyuma lwa kino nabo baakutuuka wansi bakole kye kimu, kisobole okutuusa obukulembeze wansi mu byalo.
Ssentebe w’eggombolola y’e Wakyato mu gavumenti eyaawakati, Joyce Kamukama, asiimye enkolagana ennungi wakati waabwe n’Obwakabaka ekibaviiriddeko okuyambibwako n’ebintu ebibayambye okwekulaakulanya awatali kusosola mu mawanga.