Bya Ssemakula John
Kampala
Alina bbendera y’ ekibiina kya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, ategeezezza nti enkung’aana ne kkampeyini z’akuba, tezirina ngeri yonna gye zimenya mateeka agaateekeebwawo okulwanyisa Ssennyiga Corona.
Bino Bobi Wine yabitadde mu bbaluwa gye wandiise okwanukula ebbaluwa akakiiko k’ebyokulonda gye kaamuwandiikira n’agamba nti mu butuufu poliisi n’ebitongole by’ebyokwerinda ebirala be bali mu kumenya amateeka nga balemesa enkung’aana ze.
“Kankiddemu nti kkampeyini zaffe tezirina ngeri yonna gye zimenya biragiro bya Ssennyiga Corona. Mu mazima, poliisi n’ebitongole by’ebyokwerinda ebirala bye bimenya amateeka, bitulemesezza okukuba enkung’aana, batusuulidde emisanvu, batugaanye okusula mu wooteeri, batugobye ku leediyo n’ebirala.” Bobi Wine bwe yagambye.
Ono agamba nti ab’ebyokwerinda bamulemesezza okukuba enkung’aana mu bifo gy’alina okubeera nga beekwasa ensonga ezitaliimu ate ng’ebifo bino bye bimu bikozesebwa munne bwe bavuganya, Pulezidenti Yoweri Museveni.
Kyagulanyi yanokoddeyo ebifo okuli; Jinja, Iganga, Kitgum, Moroto ne Mbale. Ku kino Kyagulanyi yagambye nti akakiiko k’ebyokulonda kalina kyekubiira mu nsonga zino.
“Tusabye okumanya okuva ku kakiiko k’ebyokulonda lwaki tewali lukung’aana oba okuyisa ebivvulu wadde okukuba mu bawagizi be ttiyaggaasi, okutuuka essaawa ya leero akakiiko k’ebyokulonda tekannatuwa nsonga nnung’amu.” Bobi Wine bwe yeemulugunyizza.
Ono yannyonnyodde nti kye kiseera akakiiko k’ebyokulonda kaveeyo kategeeze ensi oba ebiragiro bya Ssennyiga Corona bikwata ku ludda luvuganya lwokka.
Okusinziira ku biragiro n’amateeka ga Ssennyiga Corona, omuntu takkirizibwa kusisinkana bantu basoba 200, era ng’abategeka olukung’aana mulina okubaamu ‘Sanitizer’, obukookolo wamu n’omusawo ali obulindaala.
Enkung’aana zaawerebwa era abeesimbyewo ne baweebwa amagezi okukozesa leediyo, ttivvi n’omutimbagano.