Bya Ssemakula John
Kampala
Sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga awangudde Persis Namuganza, minisita w’eby’ettaka neyeddiza ekifo ky’Omumyuka wa ssentebe ow’okubiri owa bakyala ow’ekibiina ki National Resisitance Movement (NRM) ate ne Minisita Godfrey Kiwanda nawangula ekya Buganda.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Dr. Tanga Odoi, amakya ga leero alangiridde nga Kadaga bwafunye obululu 6,776 nawangula Namuganza eyafunye obululu 3,882. Ababiri bano nga bonna basibuka mu kitundu ky’e Busoga babadde ku mbiranye, nga Namuganza alumiriza Kadaga obutassa kitibwa pulezidenti Museveni era Ssentebbe w’ekibiina.
Namuganza yategeezza nga Kadaga bwakwatagana ne Opozisoni mu palamenti okuleeta ebiteeso ebisiiga ekibiina ki NRM enziro ate nga Kadaga alumirizza nga Namuganza bwaleeteddwa abamulwanyisa munda mu kibiina ki NRM abawakkanya engeri gyatambuzzaamu palamenti.
Ekifo kya Ssentebbe w’ekibiina mu Buganda ekibaddemu Hajji Abdul Nadduli, kyatwaliddwa Godfrey Kiwanda Ssuubi eyafunye obululu 4,749 nawangula Moses Karangwa Kalisa eyafunye obululu 3,701. Abalala ababadde mu lwokaano Kiganda Twaha Ssonko yafunye obululu 1,048, Mayengo Moses nafuna 127 ate Magaro John nafuna 675.
Omumyuka wa Sipiika Jacob Oulanyah yawangudde Col. Sam Engola okufuuka Ssentebe mu mambuka. Oulanyah yafunye obululu 7,473 ate Engola nafuna 1,665, ku kifo kyekimu Timothy Okee Jokene yafunye obululu 895, Dr Odongo Oledo nakungaanya obululu 277.
Mu Ankole, Dr. Chris Baryomunsi yalondeddwa Ssentebe bwafunye obululu 5,947 ate Munnamajje Maj. Gen Matayo Kyaligonza nafuna obululu 2,550, kifo kino Florence Kintu Tumwine yafunye 1,875, naddirirwa Muhangi Wilberforce n’obululu 1,255, Boaz Kafuda yakutte kya kutaano n’obululu 602 ate Dr Diini Kisembo nasembayo n’obululu 224.
Ssentebe w’ekibiina mu Kampala kati ye Katongole Singh Marwaha bwawangudde Amooti Godfrey Nyakana. Singh yafunye obululu 4,503 nga Nyakana nafuna 2,466.
E Karamoja Simon Peter Aleper yasigazza ekifo kino ku bululu 8,143 ate abadde amuvuganya Lokor Jimmy nafuna 2,220.
Captain Mike Mukula naye yawangudde Sanjay Tana okufuuka ssentebe w’ekibiina mukitundu ky’e Buvanjuba.