Bya Chris Ssemalemu Ssemakula
Kasangati
Eyali omuyima w’ekibiina ki BodaBoda 2010 yetondedde eggwanga naddala abantu beyasobya, oluvanyuma lw’okuyimbulwa okuva mu kkomera e Luzira olunaku lw’eggulo.
“Nze Kitatta mukumanya kwange, toyinza kubeera mulamu notobaako muntu gw’osobya. Naye ggwe nasobya ne bwekaba katini nga nakulinnya ku kagere mu butali bugenderevu, nga nakukosezza awantu wonna tusonyiwagane”, Kitatta bweyagambye.
Okwogera bino Kitatta abadde awayamu n’omusasi waffe leero wali mu makaage e Kasangati.
Kitatta yagambye nti wadde bingi byabaawo n’okwogerwa ke kaseera bannayuganda baddemu begatte basobole okutwala eggwanga mu maaso.
“Buli muntu yenna eyankola ekikyamu, byemwayogera byonna, byemwakola byonna. Nze Kitatta ku lwa Katonda n’ ensi yange mbasonyiye. Allah nga ye mukulembeze wange”, Kitatta bweyayongeddeko
Ono yagambye nti ekintu ekibadde singa okumuluma be bakadde be ababadde abalwadde era nga buli kadde abadde abagumya okwekwata ku Katonda.
Kitatta yeebazizza Amajje ga UPDF ga agamba nti wadde beebamukwata nebamutwala ku CMI ne Makindye naye teyakubwako oluyi era nebannonyereza okuzuula amazima.
Yasabye abantu abali mu gavumenti okumanya nti leero obuyinza babulina naye ate enkya tajja kubeera nabwo.