Bya Ssemakula John
Kampala
Essaza ekkulu ery’ e Kampala likakasizza okufa kwa Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga, asangiddwa enkya ya leero.

Kansala w’essaza lya Kampala, Pius Male Ssentumbe ategeezezza nga ayita mu kiwandiiko nti mukama waabwe bamusanze mu buliri nga omuka gwamuweddemu dda.
“N’ennaku nnyingi, ntegeeza endiga zonna nti Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala Dr. Cyprian Kizito Lwanga ayitiddwa Omukama,”Ssentumbe bw’ategeezezza.
“Ssaabasumba asangiddwa mu makaage nga afudde, tusaba Mukama Katonda omwoyo ggwe agulamuze kisa era tusaba Katonda agumye abakkiriza bonna wamu n’abennyumba ye,” ekiwandiiko ekiriko omukono gwa Ssentumbe bwe kisomye.
Okufa kwa Ssaabasumba kuzze nga kwa kibwatukira kuba eggulo ku Lwokutaana yalabiddwako nga akulembeddemu mmisa y’ ekkubo ly’omusaalaba ku lutikko e Lubaga.








