
Bya Ssemakula John
Kiteredde
Munnaddiini omutabuzi w’eddagala, omusomesa omutendeke Rev. Bro Fr. Anatoli Wasswa Kiriggwajjo owa Banakaroli Brothers abalina amakanda e Kiteredde mu disitulikiti ye Kyotera afudde.
Bro. Anatoli Wasswa afudde ku makya g’Olwokubiri oluvannyuma lw’okumala akaseera nga mugonvu nga atawanyizibwa ekirwadde ky’omutima era afiiridde ku myaka 97 ate nga obwa ‘Brother’ abumazeemu emyaka 75.
Ebyakafunikawo biraze nti ono abadde atwaliddwa okulongoosebwa omutima ogwali gwanafuwa wabula natasobola kudda ngulu.
Anatoli yabadde omutandisi w’eddwaliro lya St. Luke Ganda erijjanjabisa obutonde n’eddagala ly’ ekinnansi nga lino lirina amatabi e kiteredde, kibuye ne Gaba.
Ono ye munnaddiini eyasookera ddala okukozesa eddagala ly’ Ekinnansi najjanjaba abantu era nafuuka omusawo omuganda wadde abasinga baali baliddibya nga balowooza nti bya Sitaani era kuba kusamira.
Father Annattooli Waswa abadde mukugu mu kunoonyereza ku by’obuwangwa n’eddwadde, era abadde munoonyereza ate omuvumbuzi w’eddagala ly’obutonde.
Anatoli Wasswa yafuuka ‘Brother’ mu 1947 ate nafuuka ffaaza mu 1977 nga eno yesonga lwaki olumu abadde ayitibwa ffaaza.
Mukiseera kino omubiri gwa Fr. Anatoli Wasswa gukyali Kiteredde wabula Enteekateeka z’okumuziika zigenda kufulumizibwa akadde konna okuva kati.









