
Katikkiro wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga abikidde Obuganda Nnaalinnya Gertrude Catherine Tebattagwabwe gw’agambye nti abadde amaze akabanga nga mugonvugonvu, wabula ng’afuna obujjanjabi obwetaagisa.
“Nnaalinnya Gertrude Tebattagwabwe abadde munyiikivu nnyo mu nsonga z’Obwakabaka era ebbanga lino lyonna okuva Kabaka lwe yattikirwa abadde alabika nnyo ku mikolo egy’enjawulo egy’Obwakabaka n’egya Olulyo Olulangira tumussliddwa nnyo” Katikkiro Mayiga
Katikkiro ategeezeza nti ono afiriidde ku myaka 80, era agenze mu ngeri ya kyekango, kubanga mu kiseera wafiiridde nga aboomumaka ge bamutegekedde akabaga okumukulisa okutuuka ku kkula ery’emyaka ginoNnaalinnya Tebattagwabwe abadde mumbejja asibuka mu lubu lwa Ssekabaka Daudi Chwa II.
Enteekateeka z’okumusiibula n’okumutereka, Owek. Mayiga ategeezeza nti zijja kutegeezebwa Obuganda essaawa yonnaGutusinze nnyo Ayi Ssaabasajja Kabaka, Twakuumye bubi!!!









