Bya Ssemakula John
Kampala
Omutandiisi wa kkampuni ya Uganda Taxi Operators and Drivers Association(UTODA), Hajji Musa Katongole, afudde enkya ya leero.
Okusinziira ku booluganda lwe, Hajji Katongole yali yatwalibwa mu kasenge k’abayi mu ddwaliro lya TMR International Hospital e Naalya, ng’atawaanyizibwa ekirwadde ky’omutima.
Omubaka wa Kawempe North mu Palamenti, Latif Ssebagala, akakasizza okufa kwa Katongole n’ategeeza nti ono abadde mpagi y’amaanyi eri enkulaakulana naddala mu Busiraamu ne Buganda. Omwogezi w’ekibiina ekigatta aba takisi kati ekimanyiddwa nga KOTSA, Moses Mawejje Birungi, ategeezezza nti okufa kwa Hajji Katongole ddibu ddene nnyo eri eggwanga.
“Wadde abadde muganda ate omusiraamu naye abadde ayanguyirwa buli muntu. Bw’obadde okolagana naye nga tosobola kumanya ddiini ye oba ggwanga lye, abadde alwana okulaba ng’ensi ekulaakulana.” Birungi bw’annyonnyodde.
Katongole yatandika UTODA mu 1986 nga yaddukanya ppaaka za takisi mu Kampala era ng’akwasisa empisa n’amateeka mu ba ddereeva ne bakondakita.
Mu mwaka 2012, aba Kampala City Council baagaana okuzza obuggya endagaano ye ey’okuddukanya ppaaka zino era wano we waava okusasika kwa UTODA. Waabalukawo ekiwayi kya baddereeva ne batandika okumusekeeterera batwale obuvunaanyizibwa buno.
Mu 2015, KCCA yeddiza okuddukanya entambula za takisi era bwetyo UTODA n’eyita awo. Wano Hajji Katongole yeemalira ku mirimu gye emirala n’ayongera okuweereza Buganda wamu n’Obusiraamu okutuusa lw’avudde mu nsi.