Bya Benard Ssengoonzi
Kampala
Omuzanyi wa firimu ya Black Panther Chadwick Boseman, afudde oluvanyuma lw’okumala emyaka 4 nga atawaanyizibwa ekirwadde kya kkookolo w’ekyenda.

Boseman afudde lunaku lwa leero nga abadde aweza emyaka 45, abakugu mu America mu 2016 bazikuula nga ono bweyalina ekirwadde kya kkookolo nga kyali kituuse ku mutendera III era naateekebwa bu bujjanjabi.
Ku Lwokutaano famire y’omugenzi yavuddeyo ku mutimbagano gwe ogwa Instagram neekakasa nga Boseman bweyabadde avudde mu bulamu bw’ensi.
Mukiseera Boseman weyazannyira firimu From Marshall to Da 5 Bloods, August Wilson’s Ma Rainey’s Black Bottom’ yali yatandika dda okujjanjabibwa mu nkola y’okukaliririra ekirwadde kino (Chemotherapy) wamu n’okulongoosebwa emirundi egiwerako.
Boseman yazaalibwa mu kibuga Anderson mu ssaza lye South Carolina era nga gyeyakulira era mu mwaka gwa 2003 lweyasooka okulabibwa mu ntimbe za TV mu firimu ya ‘All my Children’ era wano weyava nafuuka ow’erinnya mu firimu endala eziwera.
Bweyazannya nga Kabaka T’Challa mu firimu ya ‘Black Panther’ yeyongera ettutumu mu nsi yonna era neyongera okukyusa obulamu bwe olw’okubabibwa obukadde n’obukadde bw’abantu.