Bya Ssemakula John
Kampala
Eyali Mmeeya wa Kampala, Al Hajji Nasser Ntege Ssebaggala, abadde amanyiddwa nga Seeya, afudde olunaku lwa leero.
Ssebaggala 72, afudde ku makya ga leero Olwomukaaga mu ddwaliro lya International Hospital of Kampala (IHK) gye yali yatwalibwa oluvanyuma lw’okugwa mu kinaabiro n’afuna ekizibu mu lubuto.
Amaze Ssabbiiti bbiri ng’ali mu kasenge awakuumirwa abayi.
Ono abadde munnabyabufuzi omugundiivu era ye yali mmeeya w’ekibuga Kampala okuva amu 2006 okutuuka mu 2011.
Nga tannafuuka Mmeeya Ssebaggala yasooka kwesimbawo ku bwa Pulezidenti mu kalulu ka 2006 wabula n’alemesebwa olw’obutaba na buyigirize.
Mu 2010 yeesowolayo okuvuganya Norbert Mao ku bwa Ssenkaggale bwa Democratic Party (DP) wabula n’awangulwa.
Oluvannyuma yakola ekibiina kye wadde nga kino yakimalamu akaseera katono n’akisattulula era n’ayingira National Resistance Movement (NRM) era n’aweebwa n’ekifo ky’omuwabuzi wa Pulezidenti.
W’afiiridde abadde yaakamala okulangirira nti yeggasse ku kibiina ekikulirwa Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) era n’asuubiza okuvuganya Loodimmeeya Erias Lukwago ku bwammeeya.
Ebyembi nga 10/09/2020 Ssebaggala yasirittuka n’agwa mu kinaabiro era n’addusibwa mu ddwaliro lya IHK ng’eno abasawo gye baazuulira nti yalina n’ekizibu mu lubuto.
Ab’enju y’omugenzi basuubirwa okufulumyawo ekiwandiiko eky’enjawulo ku nteekateeka y’okuziika wamu n’okukungubaira Seeya.
Gutusinze nnyo Ayi Ssaabasajja Kabaka