Bya Musasi Waffe
Nsangi – Wakiso
Amasannyalaze gasse abantu basatu balamba mu ttawuni y’e Kasenge ku makya g’Olunaku lwaleero ku Lwokuna.
Abagenzi kuliko; Asiimwe Babirye ow’emyaka 35, Annet ow’emyaka 24 n’omwana Jeremiah Sekalenzi ow’emyaka 5.
Okunoonyereza okukoleddwa poliisi y’e Nsangi kulaze nti ennyumba abagenzi gye babadde bapangisa teyaliimu masannyalaze ne basalawo okugabba ku muliraano basobole okwaka.
Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigire obuzibu bwavudde ku Annet okwoza engoye ze n’azaanika ku waya eyabadde egatta ku waya kwe babbira amasannyalaze bwegatyo ne gamukuba.
Ono yabadde akyakutte ku waya eriko amasannyalaze nga bw’akowoola muganda we Babirye Asiimwe amuyambe era ono bwe yazze yatuuse amusikako n’emikono emyereere naye bwegatyo ne gamukuba
Asiimwe naye yalaajanye era wano omwana ow’emyaka etaano, Ssekalenzi yazze okumuyamba era ono naye yakutte ku nnyina Asiimwe naye amasannyalaze ne gamukuba.
Abalirwana bagenze okuggyako amasannyalaze nga bano bonna basatu bamaze okulugulamu obulamu.
“Emirambo gyabwe gitwaliddwa mu ddwaliro e Mulago okwongera okwekebejjebwa. Tusaasidde nnyo ab’enganda z’abagenzi.” Owoyesigire bw’agasseeko.
Ono era alabudde bannayuganda abalemedde ku muzze gw’okubba amasannyalaze okukikomya kuba kino kya bulabe ng’omuntu asobola okuvunaanibwa oba n’okufiira obulamu singa bitambula obubi.
Owoyesigire agamba nti baatandise dda ebikwekweto nga bali wamu ne kkampuni ezivunaanyizibwa ku masannyalaze okukwata abo bonna abeeyunga ku masannyalaze mu bukyamu mu Kampala n’emiriraano.