Masaka
Abantu basatu bafiiriddewo ate abalala bana nebaddusibwa mu ddwaliro nga bali mu mbeera mbi, oluvannyuma lwa Lukululana okulemerera ddereeva waayo n’eyingirira emmotoka y’ekika kya Fuso e Nkoni ku luguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara.
Kigambibwa nti Lukululana eno nnamba RAE 836A ebadde edda Rwanda y’eyingiridde Fuso nnamba UBG 720L ebadde eva e Mbarara ng’edda e Kampala.
Abafudde bategeerekese nga Aggrey Muzaya abadde avuga Fuso, ttaani bboyi n’omukazi agambibwa okubeera nannyini mmaali ebadde ku Fuso atategeerekese mannya.
Abaddusiddwa mu ddwaliro ye ddereeva wa Lukululana, Amis Baheza ne ttaani bboyi we Salim Tenywa n’abakyala babiri abategeerekese nga Monica ne Tunamuhikire.
Okusinziira ku Andrew Kamugisha eyeerabiddeko ng’akabenje kano kagwawo, ategeezezza ng’abantu abasoose okutuuka awagudde akabenje bwe babbye amatooke agabadde ku Fuso eno.
Omwogezi wa Poliisi mu ttundutundu lino, Muhamad Nsubuga, akakasizza akabenje kano n’ategeeza nti tebannaba kuzuula bikwata ku gimu ku mirambo kubanga abagenzi tebabadde nabiboogerako era ng’emirambo gitwaliddwa mu ddwaliro e Masaka.
“Abantu balina okussa ekitiibwa mu mateeka g’oku nguudo era ne mu bantu abalala abakozesa ekkubo. Tuzudde nti obubenje buva ku kuvugisa kimama awamu n’okupapa era nga kino kye kivuddeko akabenje kano.” Nsubuga bw’ategeezezza.
Ono asabye baddereeva bulijjo okusooka okwetegereza nga tebannasalawo kubanga ezimu ku nsobi ze bakola baba basobola okuzeewala.