Bya Musasi Waffe
Mukono – Kyaggwe
Abantu abasoba mu 20 bateebeerezebwa okuba nga bafiiridde mu nnyanja Nalubaale, abalala basimattuse.
Kigambibwa nti eryato lino libaddeko abantu abawera 30 wabula nga likubiddwa ejjengo olw’omuyaga ogwamanyi ogubadde ku nnyanja neritandika okuyingiza amazzi.
Kitegeerekese nti bano babadde bava ku mwalo gwe Ntuuwa Lwanabatya mu ssaza lye Kyamuswa e Kalangala, nga bagenda Kasenyi mu gombolola ye Katabi mu Wakiso.
Embeera bwetabuse, omugoba agezezaako okulitwala ku mwalo gwe Nsazi olw’embeera ebadde egaanye naye natasobola kulituusaayo.
Abantu abataasiddwa batwaliddwa ku mwalo gwe Nsazi mu disitulikiti ye Mukono era nga Poliisi n’ebitongole bye byokwerinda bali ku muyiggo gwabo abayinza okubeera nti bakyali balamu.