
Bya Ssemakula John
Entebbe
Abantu 9 bagambibwa okuba nti bafiiridde mu kabenje k’eryato eribadde ligenda e Kisaba, mu disitulikiti ye Kalangala oluvannyuma lwe lyato mwebabadde batambulira okubbira ku nnyanja Nalubaale mu kiro ekikeesezza olwa leero.
Akabenje kano kagudde wakati w’omwalo gwa Misenyi ne Lukuba mu ggombolola ye Kyamuswa mu disitulikiti ye Kalangala.
Okusinziira ku yeerabiddeko, ekizibu kyavudde ku Yingini eyabadde ku lyato lino okukwatira mu butimba obwabadde mu mazzi wakati mu mpewo eyamanyi eyabadde ku nnyanja eno n’embeera y’obudde embi.
“ Abantu bonna ababadde ku lyato babidde. Tetulina muntu yenna gwetwazeemu kulaba, tulaba bintu byebabadde nabyo ku lyato,” Omu ku beerabiddeko nga akabenje kano kagwawo bw’annyonnyodde.
Wabula gyebuvuddeko abakugu mu mbeera y’obudde balabula nti wakati w’omwezi gwa May, June ne July ku nnyanja Nalubaale bwekugenda okubaako empewo n’omuyaga ogwamanyi era mu kiseera bwekiti amaato gasobola okubbira.
Balubbira okuva mu poliisi n’eggye lya UPDF batandise dda omuyiggo okuzuula emirambo gya bano okusobola okuginnyunyulamu.
Bino webijjidde nga omubaka omukyala owa disitulikiti ye Kalangala Helen Nakimuli yakasimattuka okufiira ku nnyanja eno oluvannyuma lwe lyato mweyali atambulira okulemererwa wakati wa Entebbe ne kizinga kye Ngamba.
Omu ku batuuze b’ekitundu kino Bambalazaabwe Ssemakula ategeezezza ng’eryato lino bweribadde ery’ omusajja amanyiddwa nga Ssengendo omutuuze w’okumwalo gwe Kisaba era ono alina n’eryato eddala eryabbira mu 2002 neritta abantu abasoba mu 60.
Ono agamba nti poliisi yeetaaga okunoonyereza lwaki amaato ga Ssengendo gatta nnyo abantu kuba ye alowooza nti amaato galabika gali mu mbeera mbi oba nga yingini zakozesa zeeziri mu mbeera embi.









