![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2019/11/Muteeee.jpeg)
Bya Musasi Waffe
Essomero lya Kings College Budo, lisiimye emirimu egyakolebwa Ssekabaka Sir Edward Muteesa II nemuggonnomolako engule gye lyatuumye, “Post Humus Order of Merit,” nga eno yasoose okugifuna. Ng’Obuganda bujjukira nga bwegiweze emyaka 50 bukyanga Ssekabaka Muteesa akisa omukono, abe Budo balowoozezza nti kisaana okumusiima olw’ebirungi ebingi byeyakolera essomero lye, Obuganda wamu ne Uganda yonna. Ssekabaka Muteesa yeyali pulezidenti wa Uganda omubereberye. Mububaka bwe ku mukolo ogwabbade e Budo, Ssabassajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi yagambye nti okusiima Ssekabaka Muteesa kibeere eky’okulabirako eri abavubuka okukolera eggwanga lyabwe nga tebafudde kunfunirawa.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2019/11/Muteesa.jpeg)
“Ekikolwa ky’okusiima abantu baffe nga bakyali balamu oba nga bavudde mubulamu bw’ensi eno kikolwa kyabuzira era twetaaga okukikolanga buli kaseera. Okusiima abantu kirina amakulu; otegeera ebikolebwa oba ebyakolebwa omuntu oyo ate n’okusiga mubantu abalala omutima ogw’okukola obulungi kulwabwe, ne ku lw’eggwanga lyabwe,” Kabaka bweyategeezezza mububaka bwe obwamusomeddwa Omulangira David Golooba.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2019/11/Muteesaaa.jpeg)
“Twebaza nnyo olukiiko olufuzi olwa Kings College Budo…olw’ekirowoozo ky’okujjukira Ssekabaka Edward Muteesa II ate nga yasoose okuweebwa ekitiibwa kino. Tubeebaza nnyo olw’okwetegereza obulungi obulamu bwa Sir Edward Muteesa II olwebyo byeyakolera ensi ye awatali kusuubira kintu kyonna. Kino kibeere eky’okulabirako eri abavubuka baffe okukolera abantu nga tetwesigamye kunjogera ya nfuniramuwa; ayononye ensi yaffe naddala mubannabyabufuzi n’abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo,” Kabaka bweyagambye.
Ssekabaka Muteesa II yasomera Buddo era yali munnabyamizannyo wamaanyi ku ssomero lino. Ku mukolo guno Olulyo Olulangira lwawaddeyo obukadde 10 ziyambeko mu kuddaabiriza chapel Ssekabaka Muteesa II mwebamubatiriza. Omumyuka wa Katikkiro ow’okubiri era Minisita w’eby’ensimbi Owek Robert Waggwa Nsibirwa eyakiikiridde Katikkiro naye yeebazizza Budo olw’okujjukira Muteesa.
“Njagala okwebaza Kings College Budo olw’okusomesa n’okulabirira abalangira n’abambejja… kyetuyigira mu kino bwebumalirivu, okwerekereza n’alwanirira abantu be. Tuteekeddwa okuyigira ku mirimu gye, n’obukelembeze bwe. Kizzamu amannyi nti nga tujjukira nga bwejiweze emyaka 50 bukyanga afa, mumuwadde ekitiibwa kino . Tukakasa nti Ssekabaka Muteesa kino akigwanidde,” Nsibirwa bweyagambye. Omukolo gwetabiddwako abalangira n’abambejja ab’enjawulo saako abakungu okuva mu gavumenti e Mmengo wamu neyawakati.