Bya Ssemakula John
Kampala
Ekituufu ekyavuddeko okufa kw’abadde omumyuka wa Ssaabaduumizi wa poliisi, Maj Gen. Paul Lokech kizuuliddwa wakati ng’eng’ambo zigenda mu maaso n’okuyiting’ana ng’abamu bateebereza nti enfa y’omugenzi eriko akabuuza.
Ku Ssande, poliisi y’eggwanga ng’eyita mu mwogezi waayo Fred Enanga yafulumizza alipoota eyavudde mu basawo abakugu abaakedde omulambo gw’omugenzi.
“Twagala okutegeeza abantu nti abasawo abakugu beekebezze omulambo gw’omugenzi baabadde 4 era ku bano kuliko akulira ebyobulamu mu UPDF Kasasira Steven, omusawo w’omugenzi Dr. Ben Kinge n’abantu abalala babiri abalondeddwa famire y’omugenzi era bakizudde nti waliwo akasaayi akeetukuta ne kakola akatole nga kano ke kaatambudde ppaka mu mawuggwe.” Enanga bw’agambye.
Okusinziira ku Enanga abakugu bano baakizudde nti Gen. Lokech yali yakosebwa mu kakongovule ak’okugulu kwe okwa ddyo mu mwezi gwa July.
Akabenje kano tekaali kaamanyi era omugenzi abadde ajjanjabirwa ku Rubby Medical Centre era bulijjo bamukolako ng’ava waka.
Enanga agamba nti abasawo Lokech baamuwa amagezi okugulu kuno akukozese dduyiro omutonotono ng’ali ewaka naye emabegako wakati w’ennaku nga 2-3 yatandise okuwulira obulumi obwamaanyi era n’ategeeza abasawo be era ne bamulagira okugenda mu ddwaliro nga 21/ 08/2021 basobole okumwekebejja.
“Kibi nnyo nti ku lunaku lwennyini, omugenzi yakubidde omusawo ku ssaawa 1: 54 ez’okumakya, wakati nga yeetegeka yatandise okussa obubi era n’addamu n’akubira Dr. Kinge eyadduse n’amusanga ng’assa omukka ogw’enkomerero era yafudde yaakamala okumutuukako.” Enanga bw’agasseeko.
Enanga annyonnyodde nti abasawo bwe baabadde beekebejja omulambo baasaze akakongovule ne basangamu ekitole ky’omusaayi ogwekutte mu gumu ku misuwa eminene egitambuza omusaayi.
Baayongedde ne beekebejja era ne basala ekifuba kye ne basanga ekitundu ekirala eky’omusaayi nga kyawagamidde mu mawuggwe era nga kino kye kyamulemesezza okussa obulungi era ne kimuviirako okufa.
Wano Enanga w’asinzidde n’ategeeza ng’omugenzi bwe yafudde olw’obuvune bwe yafuna era n’alabula abantu ababadde batandise okubitambuza ng’omugenzi bw’alabika okuba nga teyeefiiridde.