Bya Ssemakula John
Eggwanga lya Kenya lizzeemu okukkiriza Kasooli ava mu Yuganda ne Tanzania oluvannyuma lw’okumala ennaku 4 nnamba ng’aweereddwa okuyingizibwa mu ggwanga eryo.

Okusinziira ku mpapula z’amawulire e Kenya okuli olwa Business Daily, Minisitule y’ebyobulimi mu Kenya kino yakikoze wabula ng’etaddewo obukwakkulizo obwamaanyi eri abasuubuzi abatwala kasooli mu Kenya.
Kinajjukirwa nti Kenya ng’eyita mu kitongole kyayo ekya Kenya’s Agriculture and Food Authority (AFA), yawera Kasooli ava e Uganda okuyingizibwa mu ggwanga lyabwe nga bagamba nti alimu ekirungo kya ‘Mycotoxins’ eky’obulabe eri bannansi baayo.
Kino kyasatizza bannayuganda ne basaba gavumenti ya Uganda nayo okuwera ebintu ebiva e Kenya omuli emiyembe n’ebirala mu nkola ey’okwesasuza. Wadde kasooli akkiriziddwa, waliwo obukwakkulizo obwamaanyi ku ngeri kasooli ono gy’alimibwa, okukungulwa wamu n’okuterekebwa.
“Wakati nga tulwana okulaba nti bannakenya bafuna emmere etalina kabi n’abo be tukolagana nabo, tubasuubira okuwa bannansi baffe emmere esaanidde ng’amateeka g’omukago gwa East Africa bwe galambika.” Lawrence Angolo omukungu wa Minisitule y’ebyobulimi mu Kenya bwe yategeezezza.
Minisitule eno egamba nti ebirime byonna ebiyingizibwa n’okufulumizibwa mu Kenya, birina okuba ne Ssatifikeeti ekakasa ebirungo ebyenjawulo ebibirimu nga bino tebirina kusukka 10 ku buli 100.
Bannayuganda abatwala Kasooli e Kenya balina okubeera n’ebbaluwa eraga ebitundu kasooli ono gye yalimibwa nga tebannaba kufuna lukusa ku nsalo, lubakkiriza kumuyingiza mu Kenya.
Okuggyawo ekkoligo lino ku kasooli wa Uganda kizizzaamu abalimi essuubi kuba eno bannayuganda gye babadde basinga okutunda kasooli.
Ebibalo wakati wa January 2020 ne January 2021 biraga nti kasooli atwalibwa mu ggwanga lya Kenya yalinnya n’ebitundu 418 ku buli 100 okuva ku nsawo 101,000 n’atuuka ku nsawo 523,000. Kenya ezzeemu okukkiriza kasooli wa Uganda
Bya Ssemakula John
Eggwanga lya Kenya lizzeemu okukkiriza Kasooli ava mu Yuganda ne Tanzania oluvannyuma lw’okumala ennaku 4 nnamba ng’aweereddwa okuyingizibwa mu ggwanga eryo. Okusinziira ku mpapula z’amawulire e Kenya okuli olwa Business Daily, Minisitule y’ebyobulimi mu Kenya kino yakikoze wabula ng’etaddewo obukwakkulizo obwamaanyi eri abasuubuzi abatwala kasooli mu Kenya. Kinajjukirwa nti Kenya ng’eyita mu kitongole kyayo ekya Kenya’s Agriculture and Food Authority (AFA), yawera Kasooli ava e Uganda okuyingizibwa mu ggwanga lyabwe nga bagamba nti alimu ekirungo kya ‘Mycotoxins’ eky’obulabe eri bannansi baayo.
Kino kyasatizza bannayuganda ne basaba gavumenti ya Uganda nayo okuwera ebintu ebiva e Kenya omuli emiyembe n’ebirala mu nkola ey’okwesasuza. Wadde kasooli akkiriziddwa, waliwo obukwakkulizo obwamaanyi ku ngeri kasooli ono gy’alimibwa, okukungulwa wamu n’okuterekebwa.
“Wakati nga tulwana okulaba nti bannakenya bafuna emmere etalina kabi n’abo be tukolagana nabo, tubasuubira okuwa bannansi baffe emmere esaanidde ng’amateeka g’omukago gwa East Africa bwe galambika.” Lawrence Angolo omukungu wa Minisitule y’ebyobulimi mu Kenya bwe yategeezezza.
Minisitule eno egamba nti ebirime byonna ebiyingizibwa n’okufulumizibwa mu Kenya, birina okuba ne Ssatifikeeti ekakasa ebirungo ebyenjawulo ebibirimu nga bino tebirina kusukka 10 ku buli 100.
Bannayuganda abatwala Kasooli e Kenya balina okubeera n’ebbaluwa eraga ebitundu kasooli ono gye yalimibwa nga tebannaba kufuna lukusa ku nsalo, lubakkiriza kumuyingiza mu Kenya.
Okuggyawo ekkoligo lino ku kasooli wa Uganda kizizzaamu abalimi essuubi kuba eno bannayuganda gye babadde basinga okutunda kasooli.
Ebibalo wakati wa January 2020 ne January 2021 biraga nti kasooli atwalibwa mu ggwanga lya Kenya yalinnya n’ebitundu 418 ku buli 100 okuva ku nsawo 101,000 n’atuuka ku nsawo 523,000.