Bya Ssemakula John
Kampala
Kkooti ewozesa abakenuzi (Anti Corruption Court) mu Kampala, esibye eyali omubalirizi omukulu mu woofiisi ya Ssaabaminisita, Godfrey Kazinda, emyaka 15 ng’emulanga kwegaggawaza ng’akozesa amakubo amakyamu.

Kazinda yakwatibwa mu 2012 n’asimbibwa mu kkooti yeemu e Kololo era n’avunaanibwa okukozesa obubi woofiisi ye, okubala ebitabo mu ngeri y’ekifere wamu n’okufiiriza gavumenti ensimbi eziwera.
Ono era yavunaanibwa emisango emirala 26 egyekuusa ku kujingirira ebiwandiiko wamu n’okwekobaana okuzza emisango.
Wabula ‘Anti Corruption Court’ yaddamu nemuggulako emisano gy’okwegaggawaza mu ngeri emenya amateeka.
Leero ku Lwokutaano, Omulamuzi wa kkooti eno, Margret Tibulya, amusibye emyaka 15 oluvannyuma lw’okukizuula nti alina eby’obugagga bingi ebitagya mu musaala gwe ate nga n’engeri gye yabifunamu etankanibwa.
Omulamuzi Tibulya akizudde nti, Kazinda yapangisa ennyumba ku Constellation Suites okumala emyezi 10 ku nsimbi obukadde 210, alina ennyumba n’ettaka e Kyaddondo, Mengo West nga libalirirwamu obuwumbi 3.1, alina emmotoka okuli; BMW, Mercedes Benz, ML class, Dodge saloon nga zonna zibalirirwamu obukadde 769 era ng’aliko ne ssente obuwumbi 20 eza gavumenti ze yakwasa amakubo amalala nezitakola mirimu gyazo. Okusinziira ku kkooti, obugagga buno tebukwatagana na musaala gwa Kazinda.
Wano omulamuzi w’asinzidde n’ategeeza nti buli gumu ku misango egisinze Kazinda gisibwa emyaka 10 naye olw’okuba abadde amaze emyaka 5 ku alimanda, asazeewo amusalireko nga kati buli musango agenda kugusibwa emyaka 5. Ebibonerezo byonna agenda kubikolera wamu ekitegeeza nti Kazinda waakusibwa emyaka 15.
Oludda oluwaabi lusabye Omulamuzi Tibulya abowe eby’obugagga bya Kazinda, kibeere essomo eri abalala abaagala okukozesa obubi woofiisi zaabwe. Wabula Kazinda alaajanirdde omulamuzi nga bw’alina abaana babiri wamu ne nnyina ow’emyaka 80, b’alabirira.
Kazinda era asabye kkooti emuyimbule kubanga abadde mu kkomera okumala emyaka 8 ku misango egifaanana bwe giti ng’agamba nti kati ayize.
Omulamuzi Tibulya agaanye okusaba kwa Kazinda n’ategeeza nti tasobola kukkiriza bantu ng’ono kweyagalira mu bintu bye bafunye mu makubo amakyamu era n’alagira biboyebwe.








