Bya Samuel Stuart Jjingo
Butoolo – Mawokota
Omwami w’Essaza Mawokota Kayima, Owek. Sarah Nannono Kaweesi n’Abamyuka be Hajj Hassan Kasujja Kagga ne Mw. Mujjuzi Godfrey Pizzaro batuuziddwa mu butongole ku mukolo ogubadde ku mbuga y’essaza.
Minisita w’Olukiiko, Kabineeti, Abagenyi n’Ensonga ez’enjawulo mu woofiisi ya Katikkiro Owek. Noah Kiyimba y’abatuuziza era asinzidde wano abantu ba Buganda okwongera okubeera obumu okusobola okuwangula ebisoomozo eby’enjawulo n’abalabe b’Obwakabaka abavuddeyo ennyo ensangi zino.
Minisita Kiyimba akubirizza abatuuziddwa obuteetuumako mirimu wabula okugabanyizaako abalala okusobola okwanguyirwa okutuukiriza obuweereza Ssaabasajja bw’abatumye eri abantu be.
Owek. Joseph Kawuki, Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu asinzidde wank n’akowoola abantu ba Buganda naddala abatuusa eddoboozi ly’abalala okwambalira abantu bonna abavaayo okuvvoola ekitiibwa kya Nnamulondo awatali kyekubiira nga kijja kwongera okunyikiza ensonga ssemasonga ettaano.
Kayima Owek. Sarah Nannono Kaweesi yebaziza nnyo Ssaabasajja olw’okumuwa Obwami amukulemberereko Essaza Mawokota era yebazizza bonna abamukwatiddeko mu kiseera kye yakamala mu bukya ayatulwa erinnya, ng’agamba nti waliwo ebikoleddwa ebirabwako naddala eky’okuzimba ekisaawe ky’Essaza.
Omukolo gwetabiddwako Minisita wa Bulungibwansi, Obutondebwensi, Amazzi n’Ekikula ky’Abantu Owek. Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo, abakiise mu Lukiiko lwa Buganda, Abataka Abakulu ab’Obusolya, Abaami ba Kabaka okuva ku mitendera egy’enjawulo, Bannabyabufuzi, Bannamawokota n’abantu ba Kabaka abalala.