
Musasi waffe
Katikkiro Charles Peter Mayiga enkya wakwolekera essaza ly’e Butambala mu kaweefube w’okwongera okunnyikiza enteekateeka ye eya Mmwanyi Terimba. Kaweefube ono, yagendererwamu okuzza wamu n’okwongera okutumbula obulimi bwe mmwanyi mu Buganda. Okusinziira ku nteekateeka eyafulumiziddwa ssenkulu w’ekitongole kya BUCADEF, ekivunanyizibwa ku kaweefube ono Samuel Muwanga, Katikkiro wakusimbula ku Mbuga enkulu e Bulange Mmengo ku ssawa bbiri n’ekitundu ez’okumakya nga awerekerwako Baminisita wamu n’abakungu e Mmengo. Ku ssawa nnya, asuubirwa okuba mu maka g’omwami Hussein Sserubiri abeera e Bugobango mu ggombolola ye Ngando. Kusaawa, nnya n’edaakiika 50, katikkrio wakubeera wa Ssalongo Edrisa Mwebe owe Kitagobwa era mu Gombolola ye Ngando. Wakati we ssawa taano n’edakiika 55 ne’essawa munaana, Katikkiro wakubeera ew’abaaami, Leonardo Lukyamuzi, Siraje Ntambaazi, Hajji Amis Kakomo, ng’ono ye minisita e Mmengo avunaanyizibwa ku bulimi. Oluvanyuma lw’ekyemisana Mayiga wakubeera n’olukungaana lw’abwonna ku ggombolola ya Ssabawaali mu Bulo