Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yetabye mu kusabira abayizi ba P7, S4 ne S6 aba Setlight Education Center Kawuku-Buzzi, nga betegekera okutuula ebibuuzo byabwe ebya kamalirizo.

Katikkiro ku mukolo guno ayogedde ku ngeri eby’enjigiriza gyebiyinza okukulakulanamu mu ggwanga era nga byonna byetololera ku mpisa, Empisa mu bazadde, Empisa mu bayizi, Empisa mu basomesa ne Empisa mu bakozi mu ssomero. Kamalabyonna ayongedde nagambye nti “ebimu ku bintu ebitulemesa okwekulaakulanya kwekutya. Naye tukole ebiri ku mmeeme yaffe, tulekere Awo okutya tusse mu nkola byetwagala okukola”
Katikkiro ku mukolo guno asimbye emiti ku somero erya Secondary ne Primary era ku mukolo gwegumu Katikkiro agguddewo ekizimbe ekisomerwamu (classroom) kyebatuumye Nabakooza kyebabbudde mu Maama w’omutandisi w’amasomero gano Anthony Wamala.
Katikkiro, Omulabirizi wa West Buganda Henry Katumba Tamale ne Micheal Lubowa owa central Buganda nga bali n’abayizi ba Setlight Education Center.
Okusaba kukulembeddwamu omulabirizi wa West Buganda Henry Katumba Tamale ne Micheal Lubowa owa central Buganda.
Omulabirizi Tamale asabye abakulu b’amasomero okussaawo ebiwandiiko mu luggya lw’amasomero ebiriko ebigambo by’eddiini bisobole okuzzaamu abayizi amaanyi nga basoma.