Bya Francis Ndugwa
Kikajjo- Nakawuka
Baminisita ba Buganda nga bakulembeddwamu Katikkiro Charles Peter Mayiga, bakyaddeko mu maka ga Minisita Kyewalabye Male, okwongera okumugumya n’okumukubagiza olw’okufiirwa mukyala we, Rosalind Kyewalabye, Ssabbiiti eno.
Okusinziira ku nnono n’Obwangwa mu Buganda, omuntu bw’afiirwa ne wayita akabanga, ab’emikwano n’enganda balina okusigala nga bamulambula mu ngeri y’okumugumya ayite mu kusoomoozebwa kw’alimu.
Katikkiro Mayiga mu bubaka bwe obusomeddwa Minisita Henry Ssekabembe Kiberu, asabye Owek. Kyewalabye ne famire, okusigala obumu era beekwate ku Katonda.
“Mutambudde n’omukyala n’abaana mu bintu bingi era byonna nga bwe wabitubuulira naye buvunaanyizibwa bwammwe, abasigadde okulaba nti bijja kugguka. Tulina okukkiriza ng’abakkiriza nti ekyo kijja kusoboka.” Ssekabembe bw’amugumizza.
Owek. Ssekabembe agambye nti Obwakabaka buli wamu ne famire eno era nga bajja kukola kyonna okubazzaamu amaanyi.
Ku bugenyi buno, Katikkiro Mayiga abadde awerekeddwako; Omumyuka owookubiri owa Katikkiro, Owek. Waggwa Nsibirwa, Minisita w’ebyettaka Owek. Mariam Nkalubo, Minisita w’ebyamawulire Noah Kiyimba, Minisita Ssekabembe ne Minisita Amis Kakomo.
Owek. Kiwalabye yeebazizza Katikkiro ne Baminisita banne olw’okumulambula n’okumugumya.
Ategeezezza nti okuva mukyala we lwe yava mu bulamu bw’ensi, embeera tebadde nnyangu newankubadde bafunye abababudaabuda n’okubazzaamu amaanyi.
Ono ategeezezza nga bw’agumye era n’asuubiza okudda aweereze Ssaabasajja Kabaka.