
Bya Ssemakula John
Entebbe – Busiro
Katikkiro Charles Peter Mayiga awamu n’Omulangira David Kintu Wasajja bakulembeddemu ky’ embuga ekigenze mu Amerika okunnyikiza obukulembeze mu baami ba Kabaka n’okwetaba mu lukung’aana lwa Buganda Bumu North American Convention.
Olukung’aana lwa Buganda Bumu North American Convention (BBNAC), olw’omulundi guno lugenda okubeera e Seattle mu Washington State mu Amerika.
Bw’abadde asimbula ku Lwokuna, Owek. Mayiga agambye nti enteekateeka eno egendereddwamu okwongera okunyweza obumu, okunyweza obukulembeze awamu n’okumanyisa abawangaalirayo ku mirimu gya gavumenti ya Nnyinimu.
“Tugenda mu Amerika okulaba abantu ba Kabaka abali mu ggwanga eryo. Mu mwaka 2015 watondebwawo ekibiina ekigatta abantu ba Kabaka abali mu Amerika nga kigatta abantu ba Kabaka abali mu Amerika ne Canada era buli luvannyuma lwa myaka 2 tubasisinkana ne tubawa obubaka bwa Kabaka era naffe netubannyonnyola emirimu gya gavumenti ya Kabka bwegitambula n’embeera bweba eyimiridde,” Owek. Mayiga bw’ategeezezza.

Ono agasseeko nti bakutuuza abaami abaggya abadda mu bigere byabo abava mu bulamu bw’ensi e San Francisco ne California okwongera okunyweza eby’obukulembeze.
Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, bagenda kugenyiwalako ku kitebe kya bannamukago abayamba okufunira abantu amazzi amayonjo aba Wells of Life mu Los Angeles bawayeemu ku nsonga ez’enjawulo .
Omulangira David Kintu Wassajja yeebazizza Ssaabasajja Kabaka olwokusiima n’amulonda okubeera omu ku bantu abagenze okusisinkana abantu be.

Abakulu bano batambulidde mu nnyonyi ya Qatar Airways ng’ekibinja kino kibaddemu Owek. Mutaasa Kafeero a, abamu ku bataka abakulu abobusolya, awamu n’Abakungu abalala.
Kinajjukirwa nti abalala okuli Supreme Mufti, Sheikh Muhammad Shaban Galabuzi, Owek. Joseph Kawuki, Minisita Mayanja Nkalubo, Minisita Noah Kiyimba awamu n’abalala batuuse eggulo limu mu ggwanga lino okusobola okwetaba mu lukung’aana lwa Buganda Bumu North American Convention awamu n’enteekateeka endala.