Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Kamalabyonna wa Buganda, Charles Peter Mayiga asabye banna Gomba okwongera okunnyikiza obumu, obukozi, obuyiiya n’okulwanyisa endwadde naddala nga bajjumbira okwegemesa.
Bino abitisse minisita w’emirimu egy’enkizo mu Bwakabaka Owek. David Mpanga bw’abadde amukiikiridde okutikkula Bannagomba oluwalo ku Lwokuna mu Bulange e Mmengo.
“Mbasaba mwongere okwolesa obumu, bwetuba tutambuza ebintu by’Obwakabaka tutambulire wamu nga tetufuddeyo ku byabufuzi. Katikkiro waffe buli lunaku atugamba nti Kabaka wa Buganda sosi wa Baganda,” Owek. Mpanga bw’agambye.
Ono annyonnyodde nti obulamu bw’abantu nsonga nkulu nnyo eri Buganda kuba abo bokka abakyali abalamu bebasobola okuzza Buganda ku ntikko nabasaba okwegemesa kuba COVID-19 akyaliwo ate nga n’endwadde endala zikyaliwo.
Owek. Mpanga abeebazizza olw’okukiika embuga kuba omutima guno gweguyimirizaawo Obwakabak era neyeebaza ab’eggombolola ya Kabulasoke abasinze okuleeta Oluwalo oluzitowa omulundi guno
Eggombolola ennya ezikola essaza Gomba bakiise n’oluwalo lwa nsimbi obukadde obuzobye mu 15.
Eggombolola ezikiise embuga kuliko; Ssaabaddu Maddu, Ssaabagabo Kabulasoke, Ssaabawaali Kyegonza ne Mumyuka Mpenja.
Abaami ba Kabaka ab’eggombolola balaze okutya ku njala eri mukitundu kyabwe nga evudde ku musana okumaze ekiseera nga gwaka nga kati n’ebisolo byebalunda biremererwa okufuna amazzi.
Kati baagala abakulu mu gavumenti eyawakati okusitukiramu ku nsonga eno nga bweyakoze ku bantu b’e Karamoja.