
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga agamba nti Buganda ekyalindiridde Federo kuba yeeyaanirwa naye nga bwebakola kino bakwongera okugissa mu bikolwa okusobola okutumbula embeera z’abantu ba Ssaabasajja Kabaka.
Bino Katikkiro abyogeredde mu Bulange e Mmengo ku Mmande bw’abadde awayaamu ne bannamawulire ku bituukiddwako mu myaka 10 gyamaze ng’akutte Ddamula okuva lweyagifuna nga 12 Muzigo 2013.
” Buganda eremedde ku federo kubanga tulowooza buli kitundu kisobola okwekolera ku nsonga zaakyo. Oyinza otya okusima amafuta e Bunyoro ate n’obawaako busammambiro,” Owek. Mayiga bw’ategeezezza.
Okwongera okunyonyola ensonga ya Federo, Katikkiro Mayiga agambye nti newankubadde nga okuviira ddala mu sseemateeka eyasooka okubagibwa nooyo eyaddamu okukolwamu ennongoosereza Federo baagana okugisaamu naye bakugiteeka mu bikolwa nga Buganda nga bwebalinda ey’ amateeka.
Mukuumaddamula asinzidde wano nasaba gavumenti ewe Buganda ebintu omuli ettaka ly’ebibira yiika 1500, ettaka lya Mayiro 9000, amasomero omuli erya Lubiri Sec. School nebirala.
Mayiga agasseeko nti mu myaka gino ekkumi enteekateeka nyingi ezireeteddwa okusitula embeera z’abantu nga muno mulimu emmwaanyi Terimba, okuzimba amalwaliro mu masaza n’okutumbula ebyenjigiriza naye wakyaliwo okusomooza nga abantu abatalina mmere, abaana abatalina ngatto awamu n’abantu abatawaanyizibwa ekirwadde kya mukenenya.

Kamalabyonna ategeezezza nti mu nteekateeka y’Emmwaanyi Terimba eyambye nnyo okutumbula obumu nga kati ebitundu 35% biva mu Buganda, era obumu buno bweyolekera mu ettooffaali omwava okuzzaawo bbugwe wa Masiro nga kilommita 3 zateekebwako bbugwe okwetoloola yiika 63 zonna eziriko amasiro gano.
Owek. Mayiga yebazizza baakatikkiro abamusooka bagambye nti baakola kinene okuzzaawo obwakabaka mwawerereza okutuuka Ssaabasajja lweyamulengera kuba ekiruubirirwa kye kyali kyakutwala Buganda ku ntikko nasaba abantu okutwala olugendo luno mu maaso.
Ono yebazizza bannamawulire abasobodde okussa ettoffaali mu buwerezaabwe buno obwemyaka 10. BBS Terefayina eriko enteekateeka eya buli lwakutaano mwetugenda okulagiranga ebyo Kamalabyona wa Buganda Charles Peter Mayiga byakoze mu myaka 10.









