Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, atongozza sizoni y’Emmwannyi terimba eya 2021 n’asaba abalimi okuyimusa omutindo gwazo kyanguye okubafunira obutale. Sizoni y’omwaka guno, Katikkiro Mayiga agitongolezza mu Bulange – Mmengo ku Lwokubiri wadde nga yabadde erina kutongolezebwa Busujju naye olwa Ssennyiga Corona ne batasobola kugendayo.
“Twatandika kaweefube w’Emmwanyi Terimba mu 2016 nga twagala okukyusa embeera z’abantu mu Buganda kubanga oluvannyuma lw’okutalaaga Buganda mu Ttoffaali, twalaba obwavu obusukkiridde naye nga mu kaweefube ono mugenderamu n’ebirime ebyenkizo ng’ebitooke.” Owek. Mayiga bw’agambye.
Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, abantu okulima emmwanyi baali baakuvaako olw’akawuka akazirumba ne badda ku birime ebirala nga Vanilla ne Moringa, nga kino kye kiseera okubbulula ekirime kino.
Katikkiro agamba nti kikulu nnyo abantu ba Kabaka okwettanira okulima ky’emmwanyi kubanga kye kimu ku byatumbula ebyenfuna by’Obwakabaka ebiseera ebyeyita. Owek. Mayiga agamba nti newankubadde basanze okusoomoozebwa kw’abantu abatagoberera mutindo, naye ng’Obwakabaka baakwongera okubakwatizaako.
Kamalabyonna agumizza abalimi nti Obwakabaka bugenda kutandika okunoonya akatale ky’emmwanyi n’okuzongerako omutindo ng’amawanga amalala kuba emmwanyi yali ya nkizo okukulaakulanya Buganda.
Ono ategeezezza nti kaweefube ono alimu emitendera esatu omuli; okwagazisa abantu okuddamu okulima emmwanyi, okubagabira endokwa, okulambula abalimi awamu n’okwenyigira mu katale k’emmwanyi nga bazitunda ebweru oba okukolamu kkaawa wano.
Owek. Mayiga era asinzidde wano n’akunga abantu okugenda mu maaso n’okwetangira ekirwadde kya Ssennyiga Corona nga bagoberera ebiragiro.