Bya Ssemakula John
Wakiso – Busiro
Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza abantu okukola ennyo nga bettanira obulimi era banyweze obumu n’obwegassi bwebaba baagala okulaakulana, Buganda esobole okudda ku ntikko.
Bino Owek. Mayiga yabyogeredde mukulambula essaza Busiro gyabadde agenze okutongoza enteekateeka y’Emmwanyi Terimba 2023 A, mwalambulidde eggombolola ttaano nalambika ensonga nnya Obwakabaka kwebugenda okussa essira.
Okusinziira ku Katikkiro obwakabaka bugenda kukyusa obuufu essira lissibwe ku nsonga nnya mu nteekateeka eno eyammwany Terimba okutandika n’omwaka 2023. Zino kuliko okukubiriza abantu okunywa kaawa, abakyala nabavubuka okwettanira okulima emmwanyi, okunyweza ebibiina byobweggasi, nokunyikizza ennima ey’omulembe mu bantu.
Owek. Mayiga era asabye abantu okwettanira Yinsuwa y’abalimi baleme kugitya kuba basobola okufunamu ekinene nga beerinda ebigwa bitalaze.
Ow’omumbuga alambudde ennimiro ezenjawulo mu gombolola ettaano mwayise era bamubuulidde engeri gyebakolamu emirimu gyabwe nga mu bano mulimu Nelson Kalyango atambulira mu kaggaali, Richard Wasswa, ennimiro ye Kigo kya Kiziba ekitwalibwa Fr. Edward Ssebuliba era ekitundu A ekya Mmwaanyi Terimba , omwaka 2023 akitongoleza Masuulita.
Minisita w’ Abavubuka mu Buganda, Owek. Henry Ssekabembe yeebazizza aba Nkobazambogo mu Busiro olw’okukwata obulungi ensonga nokubeera eky’okulabirako wabula nabalabula okusooka okwesonyiwa eby’obufuzi akadde kano basooke bakole.
Ate ye Minisita Noah Kiyimba abantu abakubiriza okukozesa obutale obubali okumpi kibasobozese okwanguyirwa okulima nokulwanyisa obwavu.
Ye Omwami wa Kabaka atwala essaza Busiro, Ssebwana Charles Kiberu Kisiiriza agamba nti abavubuka mu ssaza lino babadde tebaneenyigira nnyo mu nteekateeka eno kyokka Katikkiro kayiseemu baliko byebayize era nga baakukissaako essira.
Enteekateeka eno yeetabiddwamu abakulembeze ku mitendera egyenjawulo okuviira ddala ku mubaka atwala Busiro North, Paul Nsubuga, Ssentebe wa ‘District’ ye Wakiso, Owek. Matia Lwanga Bwanika ng’ono asinzidde wano nasaba abantu okukendeeza ku kulima Kalitunsi ne Payini kuba ayonoona ettaka.